YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 92

92
Zabbuli, oluyimba olw'oku Ssabbiiti.
Obulungi bw'okutendereza Mukama
1Kirungi okwebazanga Mukama,
N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:#Lub 14:19,20, Zab 147:1
2Okwolesanga ekisa kyo enkya,
N'obwesigwa bwo buli kiro.#Zab 36:5; 119:147-148
3N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi (10), era n'amadinda:
N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.#Zab 33:2
4Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo:
Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.#Zab 8:6
5Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama!
Ebirowoozo byo nga bye buziba nnyo.#Zab 111:2; 139:17, Bar 11:33, Kub 15:3
6Omuntu eyasiruwala tamanya kino,
So nga n'omusirusiru takitegeera:#Zab 94:8
7nti ababi ne bwe baloka ng'omuddo,
Era nga abakozi b'obubi bonna bwe babeera;
bateegekeddwa okuzikirira emirembe gyonna:#Yob 21:7, Zab 94:4, Yer 12:1
8Naye ggwe, Ayi Mukama,
ogulumizibwanga emirembe n'emirembe.#Zab 93:4
9Kubanga, laba, abalabe bo, Ayi Mukama,
Kubanga, laba, abalabe bo, balizikirira;
Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa.#Zab 68:1
10Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo:
Nfukiddwako amafuta amaggya.#1 Sam 2:1, Zab 23:5; 75:10
11Era eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange,
Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.#Zab 54:7
12Omutuukirivu alyera ng'olukindu;
Alikula ng'omuvule mu Lebanooni.#Zab 52:8; 72:7, Kos 14:5,6
13Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama
Bakulira mu mpya za Katonda waffe.#Zab 135:2
14Baliba nga bakyabala ebibala nga
bakaddiye;
Balijjula amazzi, baligejja:
15Balage nga Mukama mutuukirivu;
Oyo lye jjinja lyange,
so mu ye temuli butali butuukirivu.#Ma 32:4, Zab 58:11, Bar 9:14

Currently Selected:

Zabbuli 92: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 92