Zabbuli 91
91
Obukuumi awali Katonda
1Oyo atuula mu kifo eky'oyo ali waggulu ennyo,
Anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna.#Zab 32:7; 121:5, Is 25:4; 32:2
2Nnaayongeranga ku Mukama nti, “Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange:
Katonda wange gwe nneesiga.”#Zab 11:1; 14:6; 18:2
3Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'oyo akuyigga,
Ne mu kawumpuli omubi.#Zab 124:7
4Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye,
Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga:
Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.#Zab 35:2; 57:1; 61:4
5Tootyenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akakulumba emisana;#Yob 5:19-23, Nge 3:25, Is 43:1,2
6Olw'olumbe oluttira mu kizikiza,
Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7Abantu olukumi (1,000) baligwa ne battibwa ku lubiriizi lwo,
Era omutwalo (10,000) ne bagwa ku mukono gwo ogwa ddyo;
Naye ggwe okuzikirira tekulikusemberera.
8Naye olitunula n'amaaso go,
Oliraba empeera y'ababi.
9Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli kiddukiro kyange!
Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;#Zab 71:3; 91:2
10Tewali kabi akalikubaako,
So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.#Nge 12:21
11Kubanga alikulagiririza bamalayika be,
Bakukuume mu makubo go gonna.#Kuv 23:20, Zab 34:7, Nge 3:23, Mat 4:6, Beb 1:14
12Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
13Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa;
Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo.#Luk 10:19, Bik 28:5
14Kubanga antaddeko okwagala kwe,
kyendiva mmuwonya:
Ndimugulumiza waggulu,
kubanga amanyi erinnya lyange.#Zab 9:10
15Alinkaabira, nange ndimuyitaba;
Nnaabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga:
Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.#1 Sam 2:30, Yob 12:4, Zab 50:15, Yer 33:3, Zek 13:9, Yok 12:26
16Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu,
Era ndimulaga obulokozi bwange.#1 Bassek 3:14, Zab 21:4; 50:23
Currently Selected:
Zabbuli 91: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.