Zabbuli 90
90
Ekitabo ekyokuna
(Zab 90—106)
Okusaba kwa Musa omusajja wa Katonda.
Katonda wa lubeerera
1Mukama, ggwe oli kifo kyaffe eky'okutuulamu
Mu mirembe gyonna.#Zab 71:3, Lub 3:19
2Ensozi nga tezinnatondebwa,
Era nga tonnabumba nsi n'ebintu ebirimu,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.#Yob 36:26, Nge 8:25
3Abantu obazzayo mu nfuufu;
Era oyogera nti, “ Muddeyo, gye mwasibuka mmwe abaana b'abantu.”#Lub 3:19, Mub 12:7
4Kubanga emyaka olukumi (1,000) mu maaso go
Giri ng'olwajjo olwayita,
Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.#2 Peet 3:8
5Obatwalira ddala nga mukoka;
bali nga kirooto:
Enkya bali ng'omuddo ogumera.#Yob 20:8
6Enkya guloka, gumera;
Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.#Yob 4:20; 14:2, Yak 1:11
7Kubanga obusungu bwo butumalawo,
Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu maaso go,
Ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira.#Zab 19:12, Yer 16:17, Beb 4:13
9Kubanga ennaku zaffe zonna zisalwako obusungu bwo;
Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu (70),
Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana (80);
Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere;
Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo,
N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe,
Tulyoke tufune omutima omugezigezi.#Zab 39:4
13Okomewo, Ayi Mukama; olituusa wa?
Era okwatirwe ekisa abaddu bo.#Ma 32:36, Zab 74:9,10; 135:14
14Otukkuse enkya n'okusaasira kwo;
Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.#Zab 85:6
15Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyabonyezangamu,
Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16Ebikolwa byo eby'obulokozi birabikirenga ku baddu bo,
N'ekitiibwa kyo kirabikirenga ku baana baabwe.#Zab 92:4, Kaab 3:2
17Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe:
Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe:
Weewaawo, emirimu gy'emikono gyaffe oginywezenga.#Is 26:1
Currently Selected:
Zabbuli 90: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.