Zabbuli 89
89
Masukiri ya Esani Omuzera.
Okusaba Katonda okulaga ekisa kye
1Nnaayimbanga ku kwagala kwa Mukama obutaggwaawo ennaku zonna;
N'akamwa kange nnaategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
2Kubanga njogedde nti okwagala kwo tekuggwaawo emirembe n'emirembe;
N'obwesigwa bwo bunywevu mu ggulu.#Zab 36:5
3Wagamba nti, “nkoze endagaano n'omulonde wange,”
Ndayiridde Dawudi omuddu wange;#1 Bassek 8:16, Zab 132:11
4Ezzadde lyo naalinywezanga ennaku zonna,
N'entebe yo nnaagizimbiranga ddala emirembe gyonna.#2 Sam 7:8-16, 1 Bassek 9:5, Is 9:7, Yer 33:17, Ez 37:25, Luk 1:32,33, Yok 12:34 (Seera)
5N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, Ayi Mukama;
Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.#Yob 5:1, Zab 19:1; 50:6
6Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama?
Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama,#Zab 29:1; 86:8, Is 40:18
7Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu,
Agwana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?#Zab 47:2; 103:20,21
8Ayi Mukama Katonda ow'eggye,
Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, Ayi Mukama,
Ojjudde wenna obwesigwa.#1 Sam 2:2, Zab 35:10; 68:4
9Ggwe ofuga amalala g'ennyanja:
Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.#Zab 65:7
10Wabetentera ddala Lakabu;
Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go.#Is 30:7
11Eggulu liryo, era n'ensi yiyo,
Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo.#Kub 1:1, Zab 24:1
12Obukiikakkono n'obwa ddyo gwe wa butonda,
Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.#Zab 98:8
13Olina omukono ogw'amaanyi.
Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.
14Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo;
Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.#Zab 85:13; 97:2
15Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu;
Ayi Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
16Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde;
Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.#Zab 20:5,7
17Kubanga ggwe oli kitiibwa ky'amaanyi gaabwe;
N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga.#Zab 75:10
18Kubanga Mukama ye nannyini
ngabo yaffe;
Era Omutukuvu wa Isiraeri ye
nannyini kabaka waffe.#Zab 47:9; 71:22
19Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa,
N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi;
Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
20Ndabye Dawudi omuddu wange;
Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu.#1 Sam 16:13, Bik 13:22
21Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali;
N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi.
22Omulabe taamujoogenga,
Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga.#2 Sam 7:9,10
23Nange nnaasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge,
Era naakubanga abanaamukyawanga.
24Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye;
Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga.#Zab 89:1
25Era nnaateekanga omukono gwe ku nnyanja,
N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga.#Zab 72:8
26Anankaabiranga nti Ggwe kitange,
Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange.#2 Sam 7:14, 1 Byom 22:10
27Era ndimufuula omubereberye wange,
Asinga bakabaka ab'ensi.#Kuv 4:22, Zab 2:7, Bar 8:29, Beb 1:5, Kub 1:5
28Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe,
N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali.#Zab 89:3
29Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna,
N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu.#Ma 11:21, Zab 89:4
30Abaana be bwe banaalekanga
amateeka gange,
Ne batatambuliranga mu misango gyange;#2 Sam 7:14, Yer 9:13
31Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange,
Ne batakwatanga mateeka gange;
32Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo,
N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba.
33Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange,
So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka.
34Siimenyenga ndagaano yange,
Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange.
35Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange;
Siimulimbenga Dawudi.#Am 4:2, Beb 6:17,18
36Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna,
N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange.#Zab 72:5; 89:4
37Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi,
Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu.#Yer 31:35,36 (Seera)
38Naye wasuula n'ogoba
N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta.#Zab 44:9
39Wakyawa endagaano ey'omuddu wo.
Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.#Zab 74:7, Kung 5:16
40Wamenyaamenya enkomera ze zonna;
Wayabya ebigo bye.#Zab 44:13; 80:12
41Bonna abayita mu kkubo bamunyaga,
Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
42Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be;
Osanyusizza abamukyaye bonna.
43Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye,
So tomuyimirizizza mu lutalo.
44Omazeewo okumasamasa kwe,
N'osuulira ddala entebe ye wansi.
45Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe,
N'omuswaza.#Zab 102:23; 109:29 (Seera)
46Olituusa wa, Ayi Mukama, okwekwekanga ennaku zonna?
Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?#Zab 13:1
47Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono;
Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
48Muntu ki omulamu atalifa?
Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe?#Zab 49:9, Beb 11:5 (Seera)
49Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa,
Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
50Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa;#Zab 74:18,22; 79:12
Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
51Abalabe bo kye bavuma, Ayi Mukama,
Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
52Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe.
Amiina, era Amiina.#Zab 41:13
Currently Selected:
Zabbuli 89: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.