YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 9

9
Ya mukulu w'abayimbi; ey'e Kimusulabbeni. Zabbulu ya Dawudi.
Katonda mwenkanya
1Nnakwebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna,
Nnaatenderezanga ebikolwa byo byonna eby'ekitalo.#Zab 26:7
2Nnaasanyukanga nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo,
ggwe ali waggulu ennyo.#Zab 7:17
3Bw'olabika, abalabe bange badda emabega,
bagwa ne bazikirira mu maaso go.
4Kubanga ggwe wayingira mu nsonga yange,
nemu bigambo byange.
Watuula ku ntebe, ng'osala omusango mu bwenkanya.#Zab 140:12
5Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi,
Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe.#Ma 9:14
6Abalabe baffe baggweerawo ddala.
Ebibuga byabwe wabimenya n'obisaanyaawo.
Era ne beerabirirwa ddala.
7Naye Mukama ye Kabaka emirembe egitaggwaawo:
Yateekawo entebe ye kw'alisalira emisango.#Zab 29:10, Kaab 1:12
8Afuga ensi yonna mu butuukirivu,
Asalira omusango amawanga gonna mu mazima.#Zab 58:11; 96:10,13
9Mukama kye kiddukiro
Ky'abo abayigganyizibwa,
Ekiddukiro mu biro eby'ennaku.#2 Sam 22:3, Zab 59:16
10N'abo abakumanyi banaakwesiganga,
Kubanga ggwe, Mukama, toleka bakunoonya.#Zab 91:14
11Muyimbe okutendereza Mukama,
atuula mu Sayuuni.
Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.#Zab 74:2; 76:2; 107:21
12Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira,
Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.#Lub 9:5, 1 Bassek 21:17-19, Zab 10:12,13
13Onsaasire, ayi Mukama.
Laba abankyaye bwe bambonyaabonya.
Mponya okuva mu kufa.
14Ndyoke mbuulirenga abantu ettendo lyo lyonna,
Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni
Nnaasanyukiranga obulokozi bwo.#1 Sam 2:1, 2 Bassek 19:21, Zab 13:5; 35:9
15Amawanga gagudde mu bunnya bwe gaasima,
Bakwatiddwa mu mutego gwe baatega.#Zab 7:15; 35:8
16Mukama yeeragidde mu ngeri gy'asalamu emisango,
Ababi bakwatiddwa mw'ebyo bo bennyini bye bakola.#Kuv 7:5; 14:4(Seera)
17Ababi baakugenda emagombe.
Wamu n'amawanga gonna ageerabira Katonda.#Yob 8:13, Zab 50:22, Yer 2:32
18Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna,
N'essuubi ery'abawombeefu teriibabulenga emirembe gyonna.#Zab 12:5
19Yimuka, ayi Mukama,
Abantu bo balemenga okukunyooma.
Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.#Zab 3:7; 10:18
20Obatiise, ayi Mukama,
Amawanga geetegeere nga bantu buntu. (Seera)

Currently Selected:

Zabbuli 9: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in