YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 8

8
Ya mukulu wa bayimbi; ey'e Kigaasi. Zabbuli ya Dawudi.
Katonda akuza omuntu
1Ayi Mukama, Mukama waffe,
Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!
Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.#Zab 113:4; 148:13
2Liyimbibwa abaana abato n'abayonka.
Oziyiza abalabe,
N'abo abagala okukola obubi bannaabwe.#Zab 44:16, Mat 11:25; 21:16, 1 Kol 1:27
3Bwe ntunuulira eggulu lye wakola,
Omwezi n'emmunyeenye, bye wateekawo,#Lub 1:16, Zab 19:1; 111:2, Bar 1:20
4Omuntu kye kiki, ggwe okumulowoozako?
Oba omwana w'omuntu, ggwe okumufaako?#Yob 7:17; 25:6, Zab 144:3, Beb 2:6-8
5Kubanga wamukola, n'abulako akatono okuba nga ggwe Katonda.
Era wamutikkira engule ey'ekitiibwa n'ettendo.#Lub 1:26-28, Zab 21:5, 1 Kol 15:27, Bef 1:22
6Wamuwa okufuga ebintu byonna bye wakola.
Wateeka ebintu byonna mu buyinza bwe:
7Endiga zonna n'ente,
Era n'ensolo ez'omu nsiko.
8Ennyonyi ez'omu bbanga,
n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja.
N'ebitonde ebirala ebiri mu nnyanja.
9Ayi Mukama, Mukama waffe,
Erinnya lyo nga ddungi nnyo
mu nsi zonna!

Currently Selected:

Zabbuli 8: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in