Zabbuli 10
10
Okwemulugunya kw'abanyigirizibwa
1Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ayi Mukama?
Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?#Zab 13:1; 22:11
2Ababi mu malala gaabwe bayigganya abaavu,
Leka bakwatibwe bo bennyini mu mitego gye bateze.#Nge 5:22
3Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe,
N'ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma.
4Omubi mu malala ge tanoonya Mukama,
Alowooza nti, “Tewali Katonda.”#Zab 14:1; 53:1
5Buli ky'akola kimugendera bulungi.
Okusala kwo okw'emisango kuli waggulu nnyo takutegeera.
Abalabe be bonna abanyooma.
6Agamba mu mutima gwe nti, “Sirisagaasagana.
Siriraba nnaku emirembe gyonna”#Kub 18:7
7Akamwa ke kajjudde okukolima, okulimba n'okujooga.
Ayanguwa okwogera eby'ettima n'ebitali bya butuukirivu.#Yob 20:12, Bar 3:14
8Yeekweka n'atuula ng'ateeze mu byalo,
Eyo gy'attira abatalina misango.
Aliimisa alabe abateeyinza.
9Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo.
Yeekisa okukwata omwavu,
N'amukwatira ddala omwavu,
n'amuwalurira mu kitimba kye.#Yob 38:40, Zab 17:12, Mi 7:2
10Akutama, n'akootakoota ku ttaka,
N'avumbagira abanafu n'amaanyi ge gonna.
11Agamba mu mutima gwe nti,
“Katonda yeerabidde,
Yeebise ku maaso, tagenda kukiraba.”#Yob 22:13, Zab 94:7, Ez 9:9
12Yimuka, ayi Mukama, ayi Katonda,
Teweerabira mwavu.#Zab 3:7; 9:12,18
13Lwaki omubi okunyoomanga Katonda,
N'agamba mu mutima gwe nti, “Tajja kunvunaana?”
14Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi,
weetegese okuyamba.
Ateesobola yeewaayo gy'oli,
Bulijjo bamulekwa ggwe obayamba.#Zab 33:13; 146:9, 1 Peet 4:19
15Malamu omubi amaanyi,
Omalirewo ddala ebibi bye.#Zab 37:17, Is 41:12
16Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe.
Amawanga agatamusinza gakuzikirizibwa mu nsi ye.#Kuv 15:18, Zab 29:10, Kub 11:15
17Ayi Mukama, wawulira abawombeefu bye bakusaba,
onyweze omutima gwabwe,
era obawulirize.#1 Byom 29:18
18Onoolamulanga abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa mu bwenkanya.
Abantu obuntu balemenga kubatiisatiisanga.#Zab 9:19; 82:3, Is 1:17
Currently Selected:
Zabbuli 10: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.