YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 86

86
Okusaba kwa Dawudi.
Okusonyiwa n'obulungi bwa Katonda
1Otege okutu kwo, Ayi Mukama, onziremu;
Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.#Zab 31:2; 40:17
2Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda.
Ayi ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3Onsaasire, Ayi Mukama;
Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.#Zab 56:1; 57:1
4Osanyuse emmeeme y'omuddu wo;
Kubanga nnyimusa emmeeme
yange eri ggwe, Ayi Mukama.#Zab 25:1
5Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa,
Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.#Kubal 14:18, Zab 130:4,8
6Otege okutu, Ayi Mukama, eri
okusaba kwange;
Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange.#Zab 55:1
7Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola;
Kubanga olinziramu.#Zab 17:6; 77:2
8Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, Ayi Mukama;
So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo.#Kuv 15:11, Ma 3:24, 1 Sam 2:2, Zab 35:10
9Amawanga gonna ge wakola galijja,
galisinza mu maaso go, Ayi Mukama;
Era galigulumiza erinnya lyo.#Zab 66:4, Is 66:23, Kub 15:4
10Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo,
Ggwe Katonda wekka.#Ma 6:4, Zab 72:18, Is 37:16, 1 Kol 8:4, Bef 4:6
11Onjigirizenga ekkubo lyo, Ayi Mukama;
nnaatambuliranga mu mazima go.
Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.#Zab 25:4; 26:3
12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange,
n'omutima gwange gwonna;
Era naagulumizanga erinnya lyo
emirembe gyonna.
13Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi;
Era wawonya emmeeme yange
mu bunnya obuli wansi ennyo.#Zab 30:3; 56:13
14Ayi Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko,
N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange,
So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.#Zab 54:3
15Naye ggwe, Ayi Mukama,
oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa,
Alwawo okusunguwala,
alina okusaasira n'amazima amangi.#Kuv 34:6, Nek 9:17, Zab 103:8; 111:4; 145:8, Yo 2:13, Yon 4:2
16Onkyukire, onsaasire;
Owe omuddu wo amaanyi go,
Olokole omwana w'omuzaana wo.#Zab 25:16; 116:16
17Ondage akabonero olw'obulungi;
Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi.
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.#Balam 6:17

Currently Selected:

Zabbuli 86: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in