YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 85

85
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya batabani ba Koola.
Okusaba okusaasira kwa Katonda
1Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa;
Wazza obusibe bwa Yakobo.#Zab 14:7
2Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo,
Wabikka ku kibi kyabwe kyonna.#Zab 32:1; 78:38, Yon 3:9 (Seera)
3Waggyawo obusungu bwo bwonna;
Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe.
4Otukyuse, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe.
Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.#Zab 80:3
5Onootusunguwaliranga ennaku zonna?
Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?#Zab 79:5
6Tolituzuukiza nate,
Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?#Zab 71:20; 90:14
7Otulage okusaasira kwo, Ayi Mukama,
Otuwe obulokozi bwo.
8Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera;
Kubanga anaabuulira abantu be
emirembe, n'abatukuvu be,
Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.#Kaab 2:1, Zek 9:10, 2 Peet 2:21
9Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya;
Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.#Is 46:13, Zek 2:5
10Okusaasira n'amazima birabaganye;
Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.#Zab 72:3; 89:14, Is 32:17, Mi 7:20
11Amazima galose mu ttaka;
N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.#Is 45:8
12Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi;
N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.#Zab 67:6; 84:11, Yak 1:17
13Obutuukirivu bunaamukulemberanga;
Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.#Is 58:8

Currently Selected:

Zabbuli 85: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 85