YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 87

87
Zabbuli ya batabani ba Koola; oluyimba.
Obukulu bwa Sayuuni
1Ku lusozi olutukuvu Mukama kwe yateeka ekibuga;#Zab 2:6, Is 28:16
2Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.#Zab 78:67,68
3Eby'ekitiibwa bikwogerwako,
Ggwe ekibuga kya Katonda.#Zab 46:4, Is 60:1,2 (Seera)
4Njogera ku Lakabu ne Babbulooni nga bali mu abo abammanyi,
wamu ne Firisutiya, Ttuulo, ne Esiyoopya;
Oyo yazaalirwa omwo, bwe boogera.
5Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti, “Gundi ne gundi baazaalirwa omwo.”
N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.#Zab 48:8
6Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga,
Nti, “Gundi yazaalirwa omwo.”#Is 4:3, Ez 13:9 (Seera)
7Abayimba era n'abo abazina, balyogera nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”#Is 12:3, Kub 21:6

Currently Selected:

Zabbuli 87: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 87