Zabbuli 84
84
Ya mukulu w'abayimbi; ey'e Kigaasi. Zabbuli ya batabani ba Koola.
Okujaguza olw'ennyumba ya Katonda
1Ekifo ky'obeeramu nga kirungi,
Ayi Mukama ow'eggye!#Zab 43:3
2Emmeeme yange yeegomba,
era ezirise olw'empya za Mukama;
Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu.#Zab 27:4; 42:1,2; 63:1
3Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba,
N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako,
Bye byoto byo, Ayi Mukama ow'eggye,
Kabaka wange, era Katonda wange.#Zab 5:2
4Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo;
Banaakutenderezanga.#Zab 42:5,11; 65:4 (Seera)
5Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe;
Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe.
6Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo;
Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa.#Ez 34:26
7Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi,
Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.#Zab 42:2, Nge 4:18, Is 40:31, 2 Kol 3:18
8Ayi Mukama Katonda ow'eggye,
wulira okusaba kwange,
Otege okutu, Ayi Katonda wa Yakobo.#Zab 59:5 (Seera)
9Tunula, Ayi Katonda engabo yaffe,
Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.#Zab 3:3
10Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange
Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.
11Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo,
Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa;
Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.#Zab 15:2; 34:9,10, Nge 2:7, Is 60:19,20, Mal 4:2, Kub 21:11,23
12Ayi Mukama ow'eggye,
Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.
Currently Selected:
Zabbuli 84: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.