Zabbuli 83
83
Oluyimba, zabbuli ya Asafu.
Okuwangula abalabe
1Ayi Katonda, tosirika nate.
Toleka kwogera, n'otobaako ky'okola, Ayi Katonda.#Zab 28:1
2Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana,
N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.#Balam 8:28, Zab 2:1
3Basala enkwe ku bantu bo,
Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.#Nek 4:8, Zab 27:5
4Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga;
Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.#Es 3:6, Zab 74:8, Yer 48:2
5Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu;
Balagaana endagaano ku ggwe:
6Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri;
Mowaabu, n'Abakagale;#Lub 25:12-16, 2 Byom 20:10
7Gebali, ne Amoni, ne Amaleki;
Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo,#1 Sam 4:1; 15:12
8Era n'Obwasuli bwe gasse nabo;
Bayambye abaana ba Lutti.#Ma 2:9, 2 Bassek 15:19 (Seera)
9Obakole nga bwe wakola Midiyaani;
Nga bwewakola Sisera, ne Yabini, ku mugga Kisoni;#Kubal 31:7, Balam 4:7,15; 5:21, Is 9:4
10Abaazikiririra e Endoli;
Ne bafuuka ng'obusa ku ttaka.
11Abakungu baabwe obafaananye
nga Olebu ne Zeebu;
Weewaawo, abalangira baabwe
bonna nga Zeba ne Zalumunna:#Balam 7:25; 8:5,21
12Abaayogera nti, “Twetwalire fekka
amalundiro ga Katonda gabeere gaffe,”#2 Byom 20:11
13Ayi Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu;
Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.#Yob 21:18, Is 17:13, Zab 59:5
14Ng'omuliro ogwokya ekibira,
Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;#Ma 32:22, Is 9:18
15Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo,
Era obatiise n'empewo zo.#Yob 9:17
16Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira;
Banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.#Zab 35:4,26
17Bakwatibwenga ensonyi,
batyenga ennaku zonna;
Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
18Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA,
Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.#Kuv 6:3, Zab 59:13; 97:9
Currently Selected:
Zabbuli 83: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.