Zabbuli 7
7
Sigayooni ya Dawudi, gye yayimbira Mukama olw'ebigambo bya kuusi Omubenyamini.
Okusaba okununulibwa
1Ayi Mukama, Katonda wange, gwe buddukiro bwange,
Ndokola, omponye bonna abanjigganya,
2Baleme kuntaagula ng'empologoma,
N'empalulwa nga tewali anaamponya.#Zab 50:22
3Ayi Mukama, Katonda wange, oba nga nnakola ekintu nga kino:
Nga nnayonoona,#1 Sam 26:18
4Oba nga nnakola mukwano gwange obubi,
Oba okulumya omulabe wange awatali nsonga,#1 Sam 24:7; 26:9
5Kale omulabe wange anjigganye era ankwate,
Anninnyiririre wansi mu ttaka anzite,
Andeke nga ngalamidde mu nfuufu. (Seera)
6Yimuka, ayi Mukama, mu busungu bwo,
Weesimbewo olwanyise abalabe bange abakambwe.
Golokoka Katonda wange, osalewo mu bwenkanya.#Yob 8:6, Zab 35:23; 94:2, Is 33:10
7Leeta abantu bonna bakungaane bakwetooloole,
Obafuge ng'osinzira waggulu.
8Ayi Mukama, asalira abantu bonna omusango,
Sala omusango gwange nsinge,
kubanga omanyi nga siriiko musango.#Zab 26:1; 35:24
9Gwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo,
komya okwonoona kw'ababi,
Onyweze abatuukirivu.#Zab 26:2, Yer 11:20, Kub 2:23
10Katonda ye ngabo mwe nneewogoma,
Alokola abalina omutima ogw'amazima.
11Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu,
era bulijjo asunguwalira ababi.#Yob 8:3, Nak 1:2
12Omuntu bw'atakyuka neyeenenya, Katonda ajja kuwagala ekitala kye.
Aleeze omutego gwe, okulasa akasaale.
13Era amuteekeddeteekedde ebintu ebirimutta,
Ayengerezza obusaale bwe.#Zab 18:14
14Laba, omubi alowooza okukola ekibi,
Ajjudde ettima, era ayogera eby'obulimba.#Yob 15:35, Is 59:4
15Obunnya bw'asima n'awuukuula,
Ye abugwamu yennyini.#Zab 57:6, Nge 26:27, Mub 10:8
16Ettima lye limuddira,
N'obukambwe bwe bulumya ye yennyini.#1 Bassek 2:32, Es 9:25, Zab 94:23, Nge 5:22
17Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe.
Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo.#Zab 9:2
Currently Selected:
Zabbuli 7: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.