Zabbuli 79
79
Zabbuli ya Asafu.
Okukungubagira okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi
1Ayi Katonda, amawanga gazze mu busika bwo;
Boonoonye Yeekaalu yo entukuvu;
Yerusaalemi bakirese matongo.#2 Bassek 25:9, Zab 74:2,7, Yer 26:18, Kung 1:10, Mi 3:12
2Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu,
Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.#Ma 28:26, Yer 7:33
3Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi;
Ne wataba muntu wa kubaziika.#Yer 14:16
4Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe,
Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.#Zab 44:13
5Ayi Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?#Ma 29:20, Zab 13:1, Ez 36:5
6Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.#Zab 14:4, Yer 10:25, Zef 3:8
7Kubanga balidde Yakobo,
Ne bazisa ekifo kye.
8Tojjukira gyetuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe;
Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga,
Kubanga tujeezebwa nnyo.#Zab 116:6, Is 49:6, Yer 11:10
9Otuyambe, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo,
Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa?
Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika
Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.#Zab 42:3; 94:1
11Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go;
Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;#Zab 102:20
12Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe
Ekivume kye baakuvuma ggwe, Ayi Mukama.#Leev 26:21,28
13Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo
tunaakwebazanga ennaku zonna.
Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.#Is 63:15
Currently Selected:
Zabbuli 79: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.