Zabbuli 78
78
Masukiri ya Asafu.
Katonda ow'ebyafaayo
1Muwulire, mmwe abantu bange, okuyigiriza kwange;
Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.#Zab 49:1, Is 51:4
2Nnayogerera mu lugero,
Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda,#Zab 49:4, Mat 13:35
3Bye twawuliranga, bye twamanyanga,
Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.#Zab 44:1
4Tetuubikisenga baana baabwe,
Naye tunabuuliranga buli mulembe ogujja,
ebikolwa bya Mukama eby'ekitalo, n'amaanyi ge,
n'eby'amagero bye bye yakola.#Kuv 12:26,27, Ma 4:9, Yos 4:6,7
5Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo,
Era yalagira etteeka mu Isiraeri,
Lye yakuutira bajjajjaffe,
Babiyigirizenga abaana baabwe,#Zab 147:19
6Emirembe egijja gibimanye,
n'abaana abalizaalibwa,
nabo babibuulire abaana baabwe,#Zab 102:18
7Balyoke basuubirenga Katonda,
So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda,
Naye bakwatenga amateeka ge,#Zab 105:45
8So balemenga okuba nga bajjajjaabwe,
Omulembe ogw'abakakanyavu, era omujeemu,
omulembe ogutalina mutima munywevu,
Ogwalina omwoyo ogutali gwa mazima eri Katonda.#Kuv 32:9, 2 Bassek 17:14, Yer 5:23
9Abaana ba Efulayimu, nga balina obusaale obw'okulwanyisa,
Ne badduka mu lutalo,
10Tebaakwata ndagaano ya Katonda,
Ne bagaana okutambulira mu
mateeka ge;#2 Bassek 17:15
11Ne beerabira ebikolwa bye,
N'eby'amagero bye bye yabalaga.#Zab 106:13, Is 17:10, Yer 2:32
12Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe,
Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.#Kuv 7:8-12
13Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati;
N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.#Kuv 14:21; 15:8
14Era emisana yabakulemberanga n'ekire,
N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.#Kuv 13:21
15Yayasa amayinja mu ddungu,
N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16Era yaviisa ensulo mu jjinja,
N'akulukusa amazzi ng'emigga.#Kuv 17:6, Kubal 20:11, Zab 105:41, Is 48:21
17Naye bo ne beeyongera bweyongezi okumwonoona,
Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.#Ma 9:22, Is 63:10, Beb 3:16
18Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe.
Ne bamusaba emmere gye baalulunkanira.#Kuv 17:2, Kubal 11:4, Ma 6:16, Zab 106:14, 1 Kol 10:9
19Era naye baayogera obubi ku Katonda;
Nga baagamba nti, “Katonda ayinza okutuliisiza mu ddungu?”#Kuv 16:3, Kubal 21:5, Zab 23:5
20Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gatiiriika,
Emigga ne gikulukuta;
Ayinza okutuwa emmere? Anaawa ennyama abantu be?
21Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala,
Omuliro ne gwaka ku Yakobo,
Era n'obusungu ne bubuubuuka ku Isiraeri,#Kubal 11:1, Zab 95:10
22Kubanga tebakkiriza Katonda,
So tebeesiga bulokozi bwe.
23Naye n'alagira eggulu waggulu,
N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;#Lub 7:11, Mal 3:10
24N'abatonnyesezanga maanu okulya,
N'abawanga emmere ey'omu ggulu.#Kuv 16:4, Nek 9:15,20, Yok 6:31, 1 Kol 10:3
25Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu:
Yabaweerezanga eby'okulya n'abakkusa.
26N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu;
Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe
empewo eziva obukiikaddyo.#Kubal 11:18-20,31
27Era n'abatonnyeseza ennyama ennyingi ng'enfuufu,
N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja.
28N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe,
Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29Awo ne balya, ne bakkuta nnyo;
N'abawa kye baali beegomba.
30Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe,
Emmere yaabwe yali ng'ekyali
mu bumwa bwabwe,#Kubal 11:33,34
31Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukirako,
N'abattamu abasajja abasinga amaanyi,
N'azikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne beeyongera okwonoona;
Newakubadde nga yabakolera eby'amagero, tebakkiriza.#Kubal 14:1-4,11
33Kyeyava afuula ennaku zaabwe obutaliimu,
N'emyaka gyabwe okuba egy'entiisa.#Kubal 14:29,35; 26:64,65
34Bwe yabattangamu, ne balyoka bamunoonya,
Ne beenenya ne bakomawo gy'ali.#Zab 63:1, Kos 5:15
35Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe,
Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.#Ma 32:4,15
36Kyokka baamuwaananga n'emimwa gyabwe,
Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.#Is 29:13; 57:11, Ez 33:31
37Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali,
So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.#Zab 51:10, Bik 8:21
38Naye ye, kubanga yajjula okusaasira,
n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atabazikiriza.
Weewaawo, emirundi emingi yakomanga ku busungu bwe,
N'atabamalirako kiruyi kye.#Kuv 34:6, Kubal 14:20, Nek 9:17, Zab 86:15
39Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri;
ng'empewo egenda n'etedda!#Lub 6:3, Yob 7:7, Yak 4:14
40Emirundi nga mingi gye baamujeemera mu ddungu,
Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41Ne bamukemanga olutata,
Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.#Zab 71:22
42Tebajjukira buyinza bwe,
Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.#Balam 8:34
43 #
Zab 105:27-36
Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri,
N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;#Kuv 7:3; 11:9,10
44N'afuula emigga gyabwe omusaayi,
N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.#Kuv 7:17-21
45N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma;
N'ebikere, ebyabazikiriza.#Kuv 8:2-14,21-24
46Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe,
N'emirimu gyabwe eri enzige.#Kuv 10:12-15
47N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira,
N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira,#Kuv 9:22-25
48Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira,
N'ebisibo byabwe ne bittibwa laddu.#Kuv 9:19-21
49Yabakasukako obusungu bwe
obukambwe,
N'okunyiiga, n'okunyiikaala,
n'okunakuwala,
N'ekibiina kya bamalayika okubazikiriza.#Kuv 12:13,23, 2 Sam 24:16
50Yabalaga obusungu bwe,
Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa,
Naye n'awaayo obulamu
bwabwe eri olumbe;
51N'akuba ababereberye bonna
abaali mu Misiri,
Abaasinga amaanyi mu weema
za Kaamu;#Kuv 12:29, Zab 105:23,36
52Naye n'aggyamu abantu be ye
ng'endiga,
N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.#Zab 77:20
53N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya;
Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.#Kuv 14:13,19,20,27,28
54N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we,
Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.#Kuv 15:17, Zab 68:16
55Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe,
N'agabawa okuba obusika ng'abagerera,
N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.#Yos 23:4, Zab 44:2
56Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera,
Ne batagondera biragiro bye.#Balam 2:11,12
57Naye ne bakyuka ne badda emabega ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe;
Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.#Kos 7:16
58Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi,
Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.#Leev 26:30, Ma 12:3; 31:29; 32:16, Ez 20:28
59Katonda bwe yawulira bw'atyo, n'asunguwala,
N'atamwa nnyo Isiraeri,#Zab 106:40
60N'afuluka mu weema ey'omu Siiro,
Eweema gye yali ateese mu bantu;#Yos 18:1, 1 Sam 4:11, Yer 7:12-14
61N'awaayo amaanyi ge mu busibe,
N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.#1 Sam 4:21
62Era n'agabula abantu be eri ekitala;
N'asunguwalira obusika bwe.#1 Sam 4:10
63Omuliro ne gulya abavubuka baabwe;
N'abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa.#Zab 89:46, Yer 7:34
64Bakabona baabwe ne bafa ekitala;
Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.#1 Sam 4:11, Yob 27:15
65Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo,
Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.#Zab 73:20, Is 42:13
66N'akuba abalabe be ne baddayo emabega,
N'abaswaza emirembe gyonna.
67Era n'agaana eweema ya Yusufu,
N'atalonda kika kya Efulayimu;
68Naye n'alonda ekika kya Yuda,
Olusozi Sayuuni lwe yayagala.#Zab 87:2
69N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi,
Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.#1 Bassek 6:1-14
70Era n'alonda Dawudi omuddu we,
N'amuggya mu bisibo by'endiga,#1 Sam 16:11-13
71Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya,
Okulundanga Yakobo, be bantu be,
ne Isiraeri bwe busika bwe.#2 Sam 5:2; 7:8, Mi 5:2-4
72Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe;
N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.#1 Bassek 9:4, Zab 101:2
Currently Selected:
Zabbuli 78: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.