YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 80

80
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekisosannimu-edusi. Zabbuli ya Asafu.
Okusaba okuzibwawo
1Ayi Omusumba wa Isiraeri, wulira,
Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo;
Ggwe atuula wakati wa bakerubi, twakire.#Kuv 25:22, 1 Sam 4:4, 2 Sam 6:2, Zab 50:2; 77:20; 99:1
2Amaanyi go galabike mu Efulayimu ne Benyamini ne Manase,
Ojje otulokole.#Kubal 2:18-24
3Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.#Kubal 6:25, 1 Bassek 18:37, Zab 60:1; 85:4
4Ayi Mukama Katonda ow'eggye,
Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo?#Zab 59:5; 79:5
5Wabaliisa emmere ey'amaziga,
Era wabawa amaziga amangi okunywa.#Zab 42:3; 102:9
6Otufudde eky'okusekererwa eri baliraanwa baffe;
N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.#Zab 44:13
7Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda ow'eggye;
Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
8Waggya omuzabbibu mu Misiri,
Wagobamu amawanga, n'ogusimba.#Zab 44:2, Is 5:1,7, Yer 2:21, Ez 17:6, Mak 12:1
9Wasaawa mu maaso gaagwo,
Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo,
N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda.
11Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja
N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.#Zab 72:8
12Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo,
Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?#Zab 89:40, Is 5:5
13Embizzi ez'omu kibira zigwonoona,
N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.#Yer 5:6
14Tukyukire nate, tukwegayiridde, Ayi Katonda ow'eggye;
Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo,#Is 63:15
15N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba,
N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi.#Lub 49:22
16Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala:
Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.#Is 33:12
17Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo,
Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi.#Zab 89:21
18Naffe tuleme okudda emabega okukuvaako.
Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19Tukomyewo gy'oli, Ayi Mukama Katonda ow'eggye;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.

Currently Selected:

Zabbuli 80: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 80