YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 73

73
Ekitabo eky'okusatu
(Zab 73—89)
Zabbuli ya Asafu.
Katonda awanirira abatuukirivu
1Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri,
N'eri abo abalina emitima emirongoofu.#Zab 24:4
2Naye nze, nali nnaatera okuterebuka,
Okukkiriza kwange nga kuseebengerera.
3Kubanga ab'amalala mbakwatirwa obuggya,
Bwe ndaba ababi nga balina omukisa.#Yob 21:7, Zab 37:1
4Bo tebalina kibaluma,
Balamu era ba maanyi.
5Tebalaba nnaku ng'abantu abalala;
Tebabonaabona ng'abantu abalala.
6Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe;
Ettima libabikka ng'ekyambalo.#Zab 109:18
7Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu:
Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.#Zab 17:10
8Baduula era boogera bakudaala,
Beewaana ne batiisatiisa abalala.
9Boogera ebinyooma Katonda ali mu ggulu,
Banyooma n'abantu be ku nsi.
10Abantu kyebaava bakyukira gyebali,
Bye boogera ne babikkiriza.
11Bagamba nti, “ Katonda alimanya atya?
Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?”#Yob 22:13, Zab 10:11
12Ababi bwe batyo bwe baba.
Babeera bulungi bulijjo, beeyongera kugaggawala.
13Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange,
Ne nneekuuma obutayonoonanga.#Yob 21:15; 34:9, Zab 26:6, Mal 3:14
14Kubanga mbonaabona okuzibya obudde,
Ne nkangavvulwa buli nkya.#Kub 3:19
15Singa n'ayogera bwe ntyo,
Sandibadde ng'omu ku baana bo.
16Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo,
Kyannema ne nsirika.
17Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda,
Ne ntegeera ebibatuukako ku nkomerero.#Zab 37:38
18Mazima obateeka awali obuseerezi,
bagwe bazikirire.#Zab 35:6
19Tebalwa kuggwaawo,
Ne bazikirizibwa entiisa.#Yob 18:11
20Bayita ng'ekirooto eky'omuntu azuukuse;
Ayi Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.#Yob 20:8, Zab 78:65
21Kubanga omutima gwange gwannuma,
N'emmeeme yange ne yennyamira.
22Nali musiru nga ssitegeera,
Nali ng'ensolo mu maaso go.#Yob 18:3
23Naye ndi wamu naawe ennaku zonna:
Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24Onoonnuŋŋamyanga n'amagezi go,
Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.#Zab 32:8; 49:15, Yok 14:3
25Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe?
So tewali mu nsi gwe njagala okuggyako ggwe.#Zab 16:2, Is 26:8, Baf 3:8
26Omubiri gwange n'omutima gwange biyinza okunafuwa:
Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.#Zab 16:5; 84:2
27Kubanga, abakwewala balizikirira,
Olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo.#Kuv 34:15, Zab 106:39, Yak 4:4
28Naye kirungi nze nsemberere Katonda:
Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange,
Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.#Zab 14:6; 118:17, Beb 10:22, Yak 4:8

Currently Selected:

Zabbuli 73: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 73