YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 72

72
Zabbuli ya Sulemaani.
Okusabira kabaka afuge n'obwenkanya n'amazima
1Ayi Katonda owenga kabaka alamulenga emisango gyo, mu mazima;
Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka!#1 Byom 22:12
2Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutukirivu,
N'abaavu balamulwenga mu bwenkanya.#Is 11:4; 32:1
3Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe,
N'obusozi, bunnajjulanga obutuukirivu!#Is 32:17
4Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu,
Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu,
Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5Abantu bakusinzenga ng'enjuba ekyaliwo,
Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna!#Zab 89:36,37, Yer 31:35,36
6Kabaka abe ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa,
Ng'empandaggirize ezifukirira ensi!#Ma 32:2, 2 Sam 23:4, Am 7:1
7Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa,
Era wanaabangawo emirembe emingi,
okutuusa omwezi lwe guliggwaawo!#Zab 92:12, Is 2:4, Bef 2:14
8Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
Era okuva ku mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi!#Kuv 23:31, Zab 2:8, Zek 9:10
9Abatuula mu ddungu balimufukaamirira;
N'abalabe be balikomba enfuufu!#Zab 22:29, Is 49:23
10Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku
Bizinga banaaleetanga ebirabo,
Bakabaka b'e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone!#1 Bassek 10:1,22, Zab 68:29, Is 43:3; 60:9
11Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge,
Amawanga gonna ganaamuweerezanga!#Is 49:7
12Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga,
N'omwavu, n'atalina buyambi.
13Anaasaasiranga omwavu n'omunafu,
N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14Anaanunulanga emmeeme zaabwe
mu kujoogebwa n'ettima;
N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.#2 Bassek 1:13, Zab 115:15
15Era banaabanga balamu;
naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e Syeba!
Era abantu banaamusabiranga bulijjo;
Banaamwebazanga okuzibya obudde!#1 Bassek 10:10
16Wanaabangawo emmere enkalu
nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi;
Ebibala byayo binaabaanga bingi ng'eby'omu Lebanooni;
Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo!#Yob 5:25
17Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna;
Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba!
N'abantu banaalabanga omukisa mu ye;
Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa!#Lub 12:3, 2 Sam 23:4, Am 7:1
18Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri,
Akola eby'amagero yekka.#Zab 41:13; 86:10
19N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna;
Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye!
Amiina, era Amiina!#Kubal 14:21, Nek 9:5
20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.

Currently Selected:

Zabbuli 72: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in