Zabbuli 74
74
Masukiri ya Asafu.
Okuzikiriza ekifo ekitukuvu
1Ayi Katonda, lwaki watusuula ennaku zonna?
Olisunguwalira endiga ez'omu ddundiro lyo emirembe gyonna?#Ma 29:20, Zab 44:9; 95:7; 100:3, Yer 23:1, Ez 34:31
2Jjukira abantu be weefunira okuva edda,
Be wanunula babe eggwanga eriryo ddala.
Jjukira Olusozi Sayuuni kwe wabeeranga.#Kuv 15:16, Zab 9:11, Is 63:9,17
3Lambula ebifo ebisigadde nga matongo.
Omulabe azikiriza byonna mu kifo ekitukuvu.
4Abalabe bo balekanira, mu kifo kyo ekitukuvu,
Mu kifo kyo ekitukuvu.
Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.#Kung 2:7
5Bafaanana ng'abantu abakutte
Embazzi okutema emiti mu kibira.#Yer 46:22
6Baamenyaamenya ebibajje byonna
Babyasa n'embazzi n'ennyondo.#1 Bassek 6:18,29-35
7Bookezza ekifo kyo ekitukuvu,
Ennyumba yo baginyoomye ne bagizikiriza.#2 Bassek 25:9, Zab 79:1
8Boogedde mu mitima gyabwe nti, “Tubazikiririze ddala bonna.”
Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu ggwanga.
9Tetukyalaba bubonero bwaffe;
Tewakyali nnabbi n'omu;
So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.#1 Sam 3:1, Kung 2:9, Mi 3:6, Mat 16:4
10Ayi Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma?
Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
11Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo?
Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.#Kung 2:3
12Naye Katonda ye Kabaka wange okuva edda lyonna,
Aleeta obulokozi wakati mu nsi.#Zab 44:4
13Wayawula ennyanja n'amaanyi go:
Wamenya emitwe gy'agasolo mu mazzi.#Kuv 14:21, Is 51:9
14Wamenyaamenya emitwe gya Lukwata,
Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu.#Yob 41:1, Is 27:1, Zab 3:3
15Wazibukula ensulo n'emyala n'omukka:
Wakaza emigga eminene.#Kuv 17:5,6, Kubal 20:11, Yos 4:23, Zab 105:41, Is 48:21; 51:10
16Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo:
Wakola omusana n'enjuba.#Lub 1:14-16; 8:22, Ma 32:8, Bik 17:26
17Wateekawo ensalo zonna ez'ensi:
Wakola ekyeya ne ddumbi.
18Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, Ayi Mukama,
Era abantu abasirusiru banyooma erinnya lyo.#Zab 89:50
19Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo:
Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
20Ojjukire endagaano;
Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima.#Lub 17:7, Leev 26:44,45, Zab 106:45, Yer 33:21
21Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde;
Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo.#Zab 6:10; 9:9
22Golokoka, Ayi Katonda, weewolereze ensonga yo;
Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma.#1 Sam 24:15
23Teweerabira ddoboozi lya balabe bo;
Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.#Zab 65:7
Currently Selected:
Zabbuli 74: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.