YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 71

71
Katonda ekiddukiro n'essuubi lyaffe
1Eri ggwe, Ayi Mukama, gye nzirukira;
Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna!#Zab 31:1-3
2Ondokole olw'obutuukirivu bwo, omponye;
Ontegere okutu, ondokole!
3Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako,
we nnaayinzanga okweyuna bulijjo;
Ggwe olagira okundokola;
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.#Ma 33:27, Zab 90:1; 91:9
4Omponye, Ayi Katonda wange, mu mukono gw'omubi,
Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.#Zab 140:1,4
5Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, Ayi Mukama Katonda;
Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.#Yer 17:7, Bar 15:13, 1 Tim 1:1
6Ggwe wampanirira okuva mu lubuto;
Ggwe wanzigya mu byenda bya mmange.
Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.#Zab 22:9,10, Is 46:3
7Nninga ekyewuunyisa eri abantu abangi;
Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.#Is 8:18, 1 Kol 4:9
8Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo,
Nnenjolesa ekitiibwa kyo okuzibya obudde.#Zab 35:28
9Tonsuula mu biro eby'obukadde;
Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10Kubanga abalabe bange banjogerako;
N'abo abateega emmeeme yange bateesezza wamu,#2 Sam 17:1,2, Zab 56:6
11Nga boogera nti, “Katonda amulese,
Mumugoberere mumukwate;
kubanga tewali anaamuwonya.”
12Ayi Katonda, tombeera wala;
Ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba.#Zab 10:1; 40:13
13Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange;
Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.#Zab 35:4
14Naye nnaasuubiranga ennaku zonna,
Era nnaayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15Akamwa kange kanaatendanga obutuukirivu bwo,
N'obulokozi bwo okuzibya obudde;
Kubanga omuwendo gwabyo sisobola kugutegeera.#Zab 40:5
16Nnaatenderezanga ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda,
Nnaayongeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17Ayi Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange;
Era okutuusa leero nnaabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye
era nga mmeze envi, Ayi Katonda, tondekanga;
Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo,
N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.#Is 46:4
19Era n'obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, bugulumivu nnyo,
Ggwe eyakola ebikulu,
Ayi Katonda, afaanana nga ggwe ye ani?#1 Sam 12:24, Zab 35:10; 36:6; 126:2, Luk 1:49
20Ggwe eyandaga ebibonoobono ebingi ebizibu,
Olinzuukiza nate,
Era olininnyisa nate okuva mu
bya wansi by'ensi.#Zab 60:3; 85:6, Kos 6:2
21Oyongerenga bw'otyo obukulu bwange,
Okyukenga nate onsanyuse.
22Era nnaakutenderezanga n'endere,
Amazima go ge nnaatenderezanga, Ayi Katonda wange;
Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.#2 Bassek 19:22, Zab 33:2; 78:41, Is 60:9
23Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza;
N'emmeeme yange gye wanunula.#Zab 25:22
24Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde,
Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.#Zab 71:8

Currently Selected:

Zabbuli 71: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in