YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 70

70
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi; ey'okujjukiza.
Okusaba Katonda okulokolebwa
(Zab 40:13-17)
1 # Zab 40:13-17 Oyanguwe, Ayi Katonda, okundokola!
Oyanguwe okunnyamba, Ayi Mukama!#Zab 38:22
2Bakwatibwe ensonyi baswale
Abanoonya emmeeme yange!
Bazzibwe ennyuma bajeezebwe
Abasanyukira okufiirwa kwange!#Zab 35:4
3Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe
Aboogera nti Nyenya! nyenya!
4Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga;
N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga.”#Zab 35:27
5Naye nze ndi mwavu, sirina kintu!
Oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda!
Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange;
Ayi Mukama, tolwawo!#Zab 86:1; 141:1

Currently Selected:

Zabbuli 70: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in