YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 69

69
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekisosannimu. Zabbuli ya Dawudi.
Okukaaba kw'omuntu ali mu buzibu
1Ndokola, Ayi Katonda!
Kubanga amazzi gantuuse mu bulago.#Zab 32
2Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira;
Ntuuse mu buziba bw'amazzi, omujjuzo gw'amazzi gunkulukuttirako.#Zab 40:2; 124:4
3Okukaaba kwange kunkooyesezza;
obulago bwange bukaze,
Amaaso gange gayimbadde nga,
nnindirira Katonda wange.#Zab 6:6; 119:123, Is 38:14
4Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi;
Ba maanyi abaagala okunzikiriza,
abo abannumba nga bawayiriza. Ebyo bye ssabba kaakano bye nsaana okuzzawo?#Zab 38:19; 40:12, Yok 15:25
5Ayi Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange;
N'okwonoona kwange tekukisibwa woli.
6Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange,
Ayi Mukama Katonda ow'eggye;
Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isiraeri.
7Kubanga banvuma okunnanga ggwe;
Ensonyi zibisse amaaso gange.#Yer 15:15
8Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange,
Era n'eri abaana ba mmange.#Yob 19:13, Is 53:3, Yok 1:11
9Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde;
N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe bizze ku nze.#Zab 89:41,50; 119:139, Yok 2:17, Bar 15:3
10Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala,
Ekyo kye kyanvumya.#Yob 17:6, Zab 35:13
11Bwe nnayambala ebibukutu,
Ne mbafuukira eŋŋombo.
12Abatuula mu mulyango banjogerako,
Era ndi luyimba lwa batamiivu.#Luus 4:1, Yob 30:9, Kung 3:14
13Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, Ayi Mukama,
mu kiseera eky'okukkirizibwamu;
Ayi Katonda, mu kusaasira kwo okungi,
Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.#Is 49:8
14Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira;
Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi.#Zab 69:1,2; 144:7
15Amazzi amangi galeme okunsaanyaawo,
Newakubadde obunnya buleme okummira, oba obunnya okunzigalira mu kamwa k'abwo.
16Onziremu, Ayi Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi;
Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.#Zab 63:3; 106:45
17So tokisa amaaso go omuddu wo;
Kubanga ndi mu nnaku;
oyanguwe okunziramu.#Zab 27:9; 102:2
18Osemberere emmeeme yange, oginunule,
Onfuule ow'eddembe olw'abalabe bange.
19Ggwe omanyi bwe nvumibwa,
bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa;
Abalabe bange bonna bali mu maaso go.#Is 22:6, Beb 12:2
20Okuvumibwa kumenye omutima gwange;
era njijudde ennaku.
Nnoonyezza anansaasira,
naye tewabadde n'omu.
Era abanaansanyusa, naye ne siraba.#Is 63:5, Yer 15:5
21Era bampa omususa okuba emmere yange;
Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu.#Mat 27:34,48, Mak 15:36, Luk 23:36, Yok 19:26
22 # Zab 35:4-8; 109:6-15 Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gyebali;
Era bwe baba mu mirembe,
gifuukenga omutego.#Bar 11:9,10
23Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba;
Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna.#2 Bassek 6:18, Is 6:10, Dan 5:6
24Obafukengako ekiruyi kyo,
N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako.
25Ennyumba yaabwe erekebwenga,
So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe.#Bik 1:20
26Kubanga baayigganya oyo gw'obonereza;
Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise.#Yob 19:21,22, Is 53:4
27Oyongerenga ekibonerezo ku kibonerezo ku bo;
So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo.#Nek 4:5
28Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu,
So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu.#Kuv 32:32, Is 4:3, Ez 13:9, Luk 10:20, Baf 4:3, Beb 12:23, Kub 3:5; 13:8
29Naye nze ndi mwavu, era ndi mu bulumi;
Obulokozi bwo, Ayi Katonda, bungulumize waggulu.#Zab 20:1
30Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba,
Naamugulumizanga n'okwebaza.#Luk 1:46
31Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente,
Ente erina amayembe n'ebinuulo.#Zab 50:13,14
32Abo abanyigirizibwa bakirabye ne basanyuka;
Mmwe abanoonya Katonda,
omutima gwammwe gube omulamu.#Zab 22:26
33Kubanga Mukama awulira abaavu,
So tanyooma basibe be.#Zab 68:6
34Eggulu n'ensi bimutenderezenga,
Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu.#Zab 96:11
35Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
era alizimba ebibuga bya Yuda;
Nabo balituula omwo, ne bagirya.#Is 44:26
36Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira;
N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.#Is 65:9

Currently Selected:

Zabbuli 69: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in