Zabbuli 68
68
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi, oluyimba.
Katonda omuwanguzi
1Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane;
Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge!#Kubal 10:35, Zab 92:9, Is 33:3
2Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo;
Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro,
N'ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda!#Zab 97:5, Mi 1:4
3Naye abatuukirivu basanyuke;
bajagulize mu maaso ga Katonda;
Weewaawo, bajaguze n'essanyu!
4Mumuyimbire Katonda,
muyimbe okutendereza erinnya lye;
Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu;
Ya lye linnya lye;
era mujagulize mu maaso ge.#Zab 66:4; 89:8, Is 40:3; 57:14, Kaab 3:8
5Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe,
era omukuumi wa bannamwandu,
Oyo ye Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.#Ma 10:18, Zab 10:14, 2 Bassek 6:17
6Katonda awa abawuulu ennyumba;
Aggya abasibe mu kkomera ne balaba ebirungi;
Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze.#1 Sam 2:5, Zab 107:33; 146:7, Bik 12:7; 16:26
7Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
Bwe watambula nabo mu ddungu;#Kuv 13:21, Balam 4:14, Is 46:4
8Ensi n'ekankana,
Enkuba nefukumuka okuva mu ggulu mu maaso ga Katonda:
Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda,
Katonda wa Isiraeri.#Kuv 19:18, Balam 5:4
9Ggwe, Ayi Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi,
N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye.#Zab 65:9,10
10Ekibiina kyo kyatuula omwo;
Ggwe, Ayi Katonda, wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
11Mukama yawa ekiragiro;
Eggye eddene ery'abakazi ne batwala amawulire.#Kuv 15:20, 1 Sam 18:6, Zab 33:9
12Bakabaka b'eggye badduka, badduka!
Abakazi abasigala eka be bagaba omunyago.#Yos 10:16, Balam 5:30
13Muligalamira mu bisibo by'endiga,
Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza,
N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu.#Balam 5:16
14Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka,
Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni.
15Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda;
Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu!
16Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu,
Olusozi Katonda lwe yayagala okutuulako?
Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.#Zab 132:13,14
17Amagaali ga Mukama gy'emitwalo ebiri (20,000), ze nkumi n'enkumi;
Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.#2 Bassek 6:17
18Olinnye waggulu, n'otwala abasibe bangi;
Oweereddwa ebirabo mu bantu,
Era ne mu bajeemu,
Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.#Balam 5:12, Bik 1:9, Bef 4:8, Kub 21:3
19Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku,
Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. #Is 46:4(Seera)
20Katonda ye Katonda atulokola;
Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.#Ma 32:39, Kub 1:18
21Naye Katonda alyasa emitwe gy'abalabe be,
N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango.#Zab 110:6
22Mukama yayogera nti Ndibakomyawo okuva mu Basani,
Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja,#Kubal 21:33-35
23Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi,
Olulimi lw'embwa zo lunagukombanga nga bwe zaagala.#1 Bassek 22:38, Zab 58:10
24Balabye bw'otambula, Ayi Katonda,
Ggwe Katonda wange, Kabaka wange,
bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
25Abayimbi bakulembedde,
abakubi b'ennanga bagoberedde,
Wakati mu bawala abakuba ebitaasa.#Kuv 15:20, 1 Byom 13:8; 15:16
26Mwebalize Katonda mu bibiina,
Ye Mukama, mmwe abasibuka mu Isiraeri.#Ma 33:28, Zab 26:12, Is 48:1
27Waliwo Benyamini omuto abafuga,
kuddeko abalangira ba Yuda ne be baateesa nabo,
bagobererwe abalangira ba Zebbulooni,
n'abalangira ba Nafutaali.#Balam 5:18, 1 Sam 9:21
28Katonda wo alazze amaanyi ge;
Onywezenga, Ayi Katonda, kye watukolera.
29Olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi,
Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo.#2 Byom 32:23, Is 18:7
30Boggolera ensolo ezo ez'omu bitoogo,
Ente ennyingi eza sseddume, n'ennyana ez'amawanga,
Linyirira wansi w'ebigere byo abo abayayanira ebirabo;
saasaanya abantu bonna abasanyukira entalo.#2 Sam 8:3,6, Yob 40:21, Zab 22:12
31Ebikomo bireeteebwe okuva e Misiri;
Kuusi eyanguwe okugolola emikono gyayo eri Katonda.#Is 19:19,21; 45:14, Bik 8:27,28
32Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi;
Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera)
33Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu,
eryabaawo edda n'edda lyonna;
Laba, ayogera n'eddoboozi lye,
lye ddoboozi ery'amaanyi.#Ma 10:14; 33:26, Zab 29:1,4; 150:1
34Mumuwe Katonda ekitiibwa n'amaanyi,
Obulungi bwe bufuga Isiraeri,
N'amaanyi ge gali mu ggulu.
35Ayi Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu,
Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be.#Zab 29:11, Is 40:29
Katonda yeebazibwe!
Currently Selected:
Zabbuli 68: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.