YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 67

67
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Zabbuli, oluyimba.
Okwebaza Katonda
1Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa,
Atwakizenga amaaso ge;#Kubal 6:25, Zab 4:6 (Seera)
2Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi,
Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.#Luk 2:30-32, Bik 18:25,26, Tit 2:11
3Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga.
4Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu,
Kubanga osalira abantu emisango n'obwenkanya,
Era oluŋŋamya amawanga gonna mu nsi.#Zab 9:8 (Seera)
5Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga!
6Ensi ereese ekyengera kyayo;
Katonda, ye Katonda waffe,
anaatuwanga omukisa.#Leev 26:4, Zab 85:12, Ez 34:27
7Katonda anaatuwanga omukisa;
N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga!#Zab 22:27

Currently Selected:

Zabbuli 67: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in