Zabbuli 66
66
Ya mukulu w'abayimbi. Oluyimba. Zabbuli.
Okutendereza Katonda olw'eby'amaanyi by'akola
1Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ggwe ensi yonna;#Zab 98:4
2Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye;
Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa!#Is 42:12
3Gamba Katonda nti, “Emirimu gyo nga gya ntiisa!
Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemulukukira.#Zab 18:44; 65:5
4Ensi yonna ekusinza,
Bakuyimbira amatendo go;
Bayimba amatendo eri erinnya lyo.” (Seera)
5Mujje mulabe emirimu gya Katonda;
Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.#Zab 46:8
6Ennyanja yagifuula olukalu;
Abantu ne bayita mu mugga ku bigere.
Eyo gyetwasanyukira mu ye.#Kuv 14:21, Yos 3:17; 4:23, Is 63:12
7Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna;
Amaaso ge gatunuulira amawanga,
Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8Kale, mmwe amawanga,
mumwebazenga Katonda waffe,
Muwulize eddoboozi erimutendereza;
9Akwatirira emmeeme yaffe obutafa,
Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.#Zab 121:3
10Kubanga ggwe, Ayi Katonda, watugeza;
Watugezesa nga bwe bagezesa effeeza.#Yob 23:10, Zek 13:9
11Watuyingiza mu kitimba;
Wateeka omugugu omuzito ku bibegabega byaffe;#Kung 1:13, Ez 12:13
12Waleka abalabe baffe okutulinnya ku mitwe;
Twayita mu muliro ne mu mazzi;
Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.#Is 43:2; 51:23
13Nnaayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa,
Nnaakusasula obweyamo bwange,#Zab 50:14
14Emimwa gyange bwe gyayogera,
N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.#Zab 18:6
15Nnaakuwa eby'okwokya ebya ssava,
N'eby'okwoteza eby'endiga eza sseddume;
Nnawaayo ente n'embuzi. (Seera)
16Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
Nange ne mbabuulira bye yakolera emmeeme yange.
17Nnamukoowoola n'akamwa kange,
Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange,
Mukama taawulire!#Nge 28:9, Is 1:15; 59:2, Yok 9:31
19Naye mazima Katonda awulidde;
Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.#Zab 116:1,2
20Katonda yeebazibwe,
Atagobye kusaba kwange,
so tannyimye kusaasira kwe.
Currently Selected:
Zabbuli 66: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.