Zabbuli 65
65
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli. Oluyimba lwa Dawudi.
Okutendereza n'okwebaza Katonda
1Ettendo likulindirira Ayi Katonda, mu Sayuuni;
Era gyoli banaawangayo obweyamo.#Zab 50:14
2Ayi ggwe awulira okusaba!
Bonna abalina omubiri balijja gy'oli,#2 Bassek 19:20, Zab 86:9, Is 66:23
3okusinziira ku bibi byabwe. Okwonoona kwaffe bwe kunaatunyigiriza,
Ggwe olikunaaliza ddala.#Zab 38:4; 79:9, Is 6:7
4Alina omukisa oyo gw'olonda,
era gw'osembeza gy'oli.
Abeerenga mu mpya zo!
Tunakkusibwanga ebirungi eby'omu nnyumba yo,
eby'omu watukuvu mu Yeekaalu yo!#Zab 33:12; 84:4
5N'ebigambo eby'entiisa otwanukula mu butuukirivu,
Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe;
Ggwe essuubi ly'enkomerero zonna ez'ensi,
era n'ennyanja eziri ewala;#Ma 10:21, 2 Sam 7:23, Zab 22:27
6Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge,
Nga yeesibye obuyinza;#Zab 93:1
7Asirisa okuwuuma kw'ennyanja,
Okuwuuma kw'amayengo gaayo,
N'okuyoogaana kw'amawanga.#Zab 89:9; 107:29, Is 17:12,13, Mak 4:39
8Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo;
Ggwe aleetera okufuluma kw'enkya n'okwakawungeezi, okuyimba n'essanyu.
9Okyalira ensi, n'ogifukirira,
Ogigaggawaza nnyo;
Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi;
Obawa eŋŋaano, ng'omaze
okulongoosa ensi bw'otyo.#Leev 26:4, Zab 46:4; 68:9; 147:14
10Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi;
Olongoosa embibi zaayo,
Ogigonza n'oluwandaggirize;
Okuwa omukisa okumera kwayo.#Yob 5:10
11Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo;
Ebigaali by'amagaali go bitirika amasavu.#Zab 104:13
12Omuddo ogw'omu ddungu, gwanyiza,
N'obusozi bwesiba essanyu.#Yob 38:26,27, Yo 2:22
13Amalundiro gajjudde ebisibo;
Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano;
Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba.#Zab 98:8, Is 30:23; 44:23
Currently Selected:
Zabbuli 65: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.