YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 64

64
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okwemulugunya olw'ababi
1Owulirenga eddoboozi lyange, Ayi Katonda,
mu kwemulugunya kwange;
Okuumenga obulamu bwange
nnemenga okutya omulabe.
2Onkweke okuva mu nkwe ez'ekyama ez'ababi,
okuva mu ntegeka ez'abakozi b'obubi;
N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu;
3Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala,
Abalagiriza ebigambo eby'obukambwe ng'obusaale,#Zab 57:4, Ma 10:21
4Balasa mu kyama oyo eyatuukirira,
Baamulasa nga talaba, ne batatya.#Zab 11:2
5Bagumyagana emyoyo nga bateesa obubi;
Bateesa okutega emitego mu kyama;
Boogera nti, “Ani anaagiraba?”#Yob 22:13, Zab 140:5, Ez 13:22
6Ani ayinza okunoonyereza ku misango gyaffe?
Tulowoozezza ku ntegeka ennekusifu.
Kubanga okulowooza okw'omunda okwa buli muntu,
n'omutima gwabwe, biba bye buziba!
7Naye Katonda alibalasa;
Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza.
8Olw'olulimi lwabwe alibaleetako okuzikirizibwa,
Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.#Nge 12:13; 18:7, Yer 48:27
9Era abantu bonna banaatyanga;
Ne batendereza omulimu gwa Katonda,
Ne balowooza n'amagezi bye yakola.#Yer 50:28; 51:10
10Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga;
Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.#Zab 32:11

Currently Selected:

Zabbuli 64: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in