Zabbuli 63
63
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
Okunoonya Katonda
1Ayi Katonda, ggwe oli Katonda wange;
nnaakeeranga okukunoonya:
Emmeeme yange erumwa ennyonta ku lulwo,
omubiri gwange gwegomba ggwe,
Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.#Zab 84:2; 143:6, Is 26:9; 32:2
2Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu kifo ekitukuvu,
Ndabe obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.#Zab 78:61
3Kubanga okwagala kwo okutuukiridde kusinga obulamu;
Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu;
Nnaayimusanga emikono gyange ne nkoowoolanga erinnya lyo.#Zab 28:2; 104:33
5Emmeeme yange ennekkusibwanga ng'alidde obusomyo n'amasavu;
N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'ennyimba ez'essanyu;#Zab 36:8
6Nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange,
Nnaakulowoozangako mu bisisimuka eby'ekiro.#Zab 42:8; 119:148
7Kubanga wabeeranga mubeezi wange,
Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.#Zab 17:8
8Emmeeme yange ekunywereddeko okukugoberera;
Omukono gwo ogwa ddyo gwe gumpanirira.#Kubal 14:24, Zab 41:12
9Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza,
Baligenda wansi mu ttaka.#Zab 55:15, Ez 31:14, Bef 4:9
10Baliweebwayo okuttibwa ne kitala;
Ebibe ne bibeeriira.
11Naye kabaka alisanyukira Katonda;
Buli alayira Katonda alyenyumiriza;
Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.#Ma 6:13, Yob 5:16, Zab 107:42, Is 65:16
Currently Selected:
Zabbuli 63: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.