Zabbuli 62
62
Ya mukulu w'abayimbi; ng'engeri bw'eri eya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
Okuzuula ekiwummulo mu Katonda
1Emmeeme yange erindirira Katonda yekka;
Oyo obulokozi bwange mwe buva.#Zab 33:20
2Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange;
Kye kigo kyange ekiwanvu;
sirisagaasagana nakatono.#Zab 9:9; 18:2
3Mulituusa wa okulumba omuntu,
Okumutta, mmwe mwenna,
Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuga?#Is 30:13
4Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe;
Basanyukira eby'obulimba.
Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe,
naye bakolima mu mitima gyabwe.#Zab 3:8; 14:6; 28:3 (Seera)
5Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka;
Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva.
6Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange;
Oyo kye kigo kyange ekiwanvu, sirisagaasagana.
7Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange;
Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
8Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu;
Mumwanjulirenga byonna ebiri mu mutima gwammwe;
Katonda kye kiddukiro gyetuli.#1 Sam 1:15, Zab 37:3; 42:4 (Seera)
9Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka,
n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba;
Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka;
Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa.#Zab 39:5; 116:11
10Temwesiganga kujooga,
Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga;
Obugagga bwe buneeyongeranga,
temubussangako mwoyo.#Nge 1:10-15,19, Luk 12:15
11Katonda yayogera omulundi gumu,
Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri;
Nga Katonda ye nannyini buyinza;#Yob 33:14, Kub 19:1
12Era ggwe, Ayi Mukama, ggwe olina okwagala okutuukiridde.
Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.#Yob 34:11, Zab 103:8, Yer 17:10, Dan 9:9, 1 Peet 1:17
Currently Selected:
Zabbuli 62: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.