Zabbuli 61
61
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekintu eky'engoye. Zabbuli ya Dawudi.
Katonda ekigo eky'amaanyi
1Owulire okukaaba kwange, Ayi Katonda;
Owulirize okusaba kwange.#Zab 55:1,2; 142:6
2Nga nsinziira ku nkomerero z'ensi nnaakukoowoolanga,
omutima gwange bwe gunaazirikanga.
Ntwala ku lwazi olunsinga obuwanvu.#Zab 18:2; 77:3
3Kubanga wali kiddukiro gye ndi,
Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.#Zab 14:6, Nge 18:10
4Nnaatuulanga mu weema yo emirembe gyonna!
Ndyoke mbeere mirembe mu bukuumi bw'ebiwaawaatiro byo.#Zab 17:8; 23:6 (Seera)
5Kubanga ggwe, Ayi Katonda,
owulidde obweyamo bwange,
Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo.
6Yongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka,
Emyaka gye gigumire emirembe emingi.#Zab 21:4
7Attikirwe engule emirembe gyonna mu maaso ga Katonda ennaku zonna;
Leka okwagala okutuukiridde n'amazima, bimukuume.#Zab 40:11
8Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna;
Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.#Zab 50:14
Currently Selected:
Zabbuli 61: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.