1
Zabbuli 61:1-2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Owulire okukaaba kwange, Ayi Katonda; Owulirize okusaba kwange. Nga nsinziira ku nkomerero z'ensi nnaakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga. Ntwala ku lwazi olunsinga obuwanvu.
Compare
Explore Zabbuli 61:1-2
2
Zabbuli 61:3
Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
Explore Zabbuli 61:3
3
Zabbuli 61:4
Nnaatuulanga mu weema yo emirembe gyonna! Ndyoke mbeere mirembe mu bukuumi bw'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
Explore Zabbuli 61:4