YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 60

60
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekisusani-edusi: Mikutamu ya Dawudi, ey'okuyigiriza: bwe yawakana ne Alamu-nakalayimu ne Alamu-zoba, Yowaabu n'akomawo, n'atta ku Edomu omutwalo mu enkumi bbiri (12,000) mu Kiwonvu eky'Omunnyo.
Okusaba Katonda obuwanguzi
1Ayi Katonda, otusudde, omenyeemenye ebyo ebitukuuma;
Watusunguwalira; naye tukwegayiridde otukomyewo.
2Wakankanya ensi; n'ojabuluzaamu;
Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.#Zab 44:9
3Olese abantu bo okubonaabona ne ebigambo ebizibu;
Otunywesezza omwenge, ogutuleteedde okutagatta.#Yob 21:20, Zab 71:20, Is 51:17
4Otaddewo ebendera eri abo abakutya,
Ekifo ekisinziirwako okulumba.#Zab 20:5, Is 11:10,12
5Muganzi wo alyoke awonyezebwe,
Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu!#Lub 33:17, Zab 89:35
6Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza;
Ndigabanya mu Sekemu, era ndigabaagaba ebitundu by'ekiwonvu ekya Sukkosi.
7Gireyaadi wange, era ne Manase wange;
Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange;
Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.#Lub 49:10, Kubal 32:1, Ma 33:17
8Mowaabu kye kinaabirwamu kyange;
Edomu ndimukasukira engatto yange;
Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange.#2 Sam 8:1,2,14
9Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi?
Ani eyandeeta mu Edomu?
10Otuvuddemu, Ayi Katonda?
So tokyatabaala na ggye lyaffe, Ayi Katonda.
11Otuyambe eri omulabe,
Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu!#Zab 146:3
12Katonda ye anaatukozesaanga eby'obuzira;
Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga abalabe baffe.#Zab 44:5; 118:15,16, Is 63:3

Currently Selected:

Zabbuli 60: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in