YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 59

59
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: Sawulo bwe yatuma, ne balabirira ennyumba okumutta.
Okulokolebwa okuva mu balabe
1Ondokole mu balabe bange, Ayi Katonda wange,
Onkuume eri abo abangolokokerako.#Zab 18:48; 20:1
2Ondokole eri abo abakola ebitali bya butuukirivu,
Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3Kubanga, laba, bateega emmeeme yange;
Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba.
Si lwa kwonoona kwange, wadde ekibi kyange, Ayi Mukama.#1 Sam 19:11; 24:11, Zab 10:9; 56:6
4Badduka, nga beeteekateeka okunnumba nga sikoze bubi.
Ozuukuke olabe onnyambe!
5Ggwe, Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri,
Ogolokoke obonereze amawanga gonna;
Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi.#Zab 80:4 (Seera)
6Bakomawo buli kawungeezi, nga bakaaba ng'embwa,
ne beetooloola ekibuga.
7Laba, beebajjagala n'akamwa
kaabwe;
Ebitala biri mu mimwa gyabwe,
Kubanga boogera nti Ani anatuwulira?#Yob 22:13, Zab 57:4, Nge 15:28
8Naye ggwe, Mukama, olibasekerera;
Oliduulira amawanga gonna.#Zab 2:4
9Ayi amaanyi gange, nnaakulindiriranga ggwe;
Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.#Zab 9:9
10Katonda wange mu kusaasira kwe anansinsinkana;
Katonda anandabisa bye njagala nga bituuka ku balabe bange.#Zab 54:7
11Tobatta, ayi Katonda, abantu bange baleme okwerabira;
Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze,
Ayi Mukama ggwe engabo yaffe!#Zab 55:23
12Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe,
olw'ebigambo by'emimwa gyabwe,
Bakwatibwe nga beenyumiriza,
Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate,
Era bategeerenga nga Katonda
afugira mu Yakobo,
Okutuuka ku nkomerero z'ensi.#Zab 7:9 (Seera)
14Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa,
Beetooloole ekibuga.
15Balitambulatambula nga banoonya emmere,
Balikeesa obudde bwe batalikkuta.#Yob 15:23, Zab 109:10
16Naye nze nnaayimbanga ku maanyi go;
Weewaawo, nnaayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya.
Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku
olw'okutegana kwange.
17Ggwe, Ayi amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza,
Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu,
Katonda andaga okusaasira kwe.

Currently Selected:

Zabbuli 59: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in