Zabbuli 58
58
Ya mukulu w'abayimbi: ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu.
Katonda abonereza ababi
1Mulagira ebituufu mwe ba katonda?
Mulamula abaana b'abantu mu mazima?
2Nedda naye mu mitima gyammwe mulowooza kukola bubi;
N'emikono gyammwe mukola bya ttima mu nsi.
3Ababi bakyama nga bakyali mu lubuto,
Baasobya okuva mu buto bwabwe,
nga boogera eby'obulimba.#Zab 51:5, Is 48:8
4Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota,
Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;#Ma 32:33, Zab 140:3
5Eritawulira ddoboozi lya balozi,
Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.#Yer 8:17
6Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe;
Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, Ayi Mukama!#Yob 4:10, Zab 3:7
7Baggweewo ng'amazzi agakulukuta amangu;
Ng'omuddo balinnyirirwe, bawotoke,
babe nga bazikirizibbwa.#Zab 112:10
8Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo,
Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana.#Yob 3:16
9Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa,
Oba ga kiragala, oba g'akwokebwa, gonna agasaanyewo!#Zab 118:12, Nge 10:25
10Omutuukirivu alisanyuka,
bw'aliraba okuwalana okwo
Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.#Ma 32:43, Yob 22:19, Zab 68:23
11Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa;
Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.#Lub 18:25, Zab 9:8; 67:4, Mub 12:14, Is 3:10
Currently Selected:
Zabbuli 58: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.