YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 57

57
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: bwe yadduka Sawulo, mu mpuku.
Katonda ayamba mu buli mbeera
1Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire;
Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe:
Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga,
Okutuusa amayengo agazikiriza nga gaayiseewo.#Zab 17:8; 91:4, Is 26:20
2Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo;
Katonda atuukiriza byonna bye yantegekera.#Zab 138:8
3Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola,
Aliswaza abo abaagala okummira; (Seera)
Katonda alituma okusaasira kwe n'amazima ge!#Zab 18:16; 40:11; 43:3; 56:1
4Ngalamidde wakati mu mpologoma;
Ezaagala okummira abaana b'abantu,
amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale,
N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi.#Zab 64:3, Nge 30:14
5Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu!
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.#Zab 108:5
6Bateekeddeteekedde ebigere byange akatimba;
Emmeeme yange ejjudde obuyinike.
Bansimidde obunnya mu kkubo lyange;
Naye bo bennyini babuguddemu.#Yob 18:8, Zab 7:15 (Seera)
7 # Zab 108:1-5 Omutima gwange gunywedde, Ayi Katonda,
omutima gwange gunywedde!
Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza!#Zab 112:7
8Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange;
zuukuka, entongooli n'ennanga!
Nze nzekka n'azuukuka enkya mu matulutulu.#Balam 5:12, 1 Byom 15:16, Zab 16:9
9Ndikwebaliza ggwe, Ayi Mukama,
mu bantu;
Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga.
10Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu,
N'amazima go gatuuka mu bire.#Zab 36:5
11Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.

Currently Selected:

Zabbuli 57: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in