Zabbuli 55
55
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Masukiri ya Dawudi.
Mukama ye atuwonya ab'enkwe
1Tega okutu eri okusaba kwange, Ayi Katonda;
So teweekweka obutawuliriza kwegayirira kwange.#Zab 54:2; 86:6
2Mpulira, onziremu;
Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda;#Zab 55:17
3Olw'eddoboozi ly'omulabe,
Olw'okujooga kw'ababi;
Kubanga bandeetako emitawaana,
Era banjigganya mu busungu.#2 Sam 16:7,8
4Omwoyo gunnuma nnyo munda yange:
N'entiisa ey'okufa enguddeko.#Mat 26:38
5Okutya n'okukankana kuntuuseeko,
N'okwekanga kunnumbye.#Yob 21:6, Is 21:4
6Ne njogera nti Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba!
Nnandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula.
7Laba, nandikyamidde wala,
Nnandisuze mu ddungu.#Yer 9:2 (Seera)
8Nnandyanguye okudduka ne nneewogoma,
Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi.
9Bazikirize, Ayi Mukama, oyawule ennimi zaabwe;
Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.#Yer 6:7
10Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo;
Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo.
11Okwonoona kuli wakati mu kyo;
Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.
12Singa omulabe yanjiganya;
Nnandiyinzizza okugumiikiriza;
So singa oyo eyankyawa yanneegulumirizaako;
Nnandyekwese mu maaso ge.#2 Sam 15:12, Yob 19:5,14,19, Zab 41:9
13Wabula ggwe, muntu munnange,
Eyatambulanga nange,
mukwano gwange gwe nnamanyiira ennyo.
14Twateesanga ebigambo n'essanyu ffembi,
Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina.
15Okufa kubatuukeko nga tebalowooza,
Bakke mu bunnya nga bakyali balamu;
Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.#Kubal 16:30,33
16Nze naakaabiriranga Katonda;
Era Mukama anandokolanga.
17Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu nneemulugunyanga ne nsindanga;
Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.#Zab 5:3; 92:2; 141:2, Dan 6:10, Bik 10:9
18Anaanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga,
Kubanga abaali balwana nange bangi.
19Katonda aliwulira, n'abakakanya,
Ye oyo eyaatikirwa edda n'edda lyonna, (Seera)
kubanga tebakuuma mateeka,
era tebatya Katonda.#Ma 33:27
20Eyali munnange yagolola emikono gye ku mikwano gye,
Yamenya endagaano gye yakola.
21Okwogera kwe kwali kugonvu ng'omuzigo,
So nga olutalo lwali mu mutima gwe;
Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta,
So nga byali bitala ebisowoddwa.#Zab 28:3; 57:4, Nge 5:3
22Teekanga omugugu gwo ku Mukama,
naye anaakuwaniriranga;
Taaganyenga abatuukirivu okuwangulwa ennaku zonna.#Zab 37:5,24
23Naye ggwe, Ayi Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira;
Abantu abaagala omusaayi n'abo abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebanagituusa na wakati;
Naye nze nneesiganga ggwe.#Yob 15:32, Zab 5:6; 59:11; 69:15, Nge 10:27
Currently Selected:
Zabbuli 55: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.