1
Zabbuli 55:22
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Teekanga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga; Taaganyenga abatuukirivu okuwangulwa ennaku zonna.
Compare
Explore Zabbuli 55:22
2
Zabbuli 55:17
Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu nneemulugunyanga ne nsindanga; Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.
Explore Zabbuli 55:17
3
Zabbuli 55:23
Naye ggwe, Ayi Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira; Abantu abaagala omusaayi n'abo abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebanagituusa na wakati; Naye nze nneesiganga ggwe.
Explore Zabbuli 55:23
4
Zabbuli 55:16
Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.
Explore Zabbuli 55:16
5
Zabbuli 55:18
Anaanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga, Kubanga abaali balwana nange bangi.
Explore Zabbuli 55:18
6
Zabbuli 55:1
Tega okutu eri okusaba kwange, Ayi Katonda; So teweekweka obutawuliriza kwegayirira kwange.
Explore Zabbuli 55:1