Zabbuli 56
56
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekiyonaseremu-lekokimu. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
Okwesiga Katonda
1Onsaasire, Ayi Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze;
Bazibya obudde nga balwana, nga banjooga.#Zab 124:3, Nge 1:12
2Abalabe bange baagala okummira
obudde okuziba;
Kubanga bangi bannwanyisa n'amalala.
3Buli lwe nnaatyanga,
Nneesiganga ggwe.#1 Sam 30:6, 2 Byom 20:3
4Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza,
Katonda gwe nneesize, siritya;
Abantu obuntu bayinza kunkola ki?#Zab 118:6
5Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde;
Ebirowoozo byabwe byonna bya kunkolako bulabe.
6Beekuŋŋaanya, beekweka,
Bakebera ebisinde byange,
Nga bwe baateega emmeeme yange.#Zab 59:3; 71:10
7Baliwona olw'obutali butuukirivu?
Mu busungu bwo suula amawanga, Ayi Katonda!
8Ggwe omanyi ennaku yange;
Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko!
Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?#2 Bassek 20:5, Mal 3:16
9Abalabe bange ne balyoka bazzibwa emabega ku lunaku lwe ndikukoowooleramu:
Kino kye mmanyi,
nga Katonda ali ku ludda lwange#Zab 102:2; 118:6, Bar 8:31
10Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza,
Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11Katonda gwe nneesize, siritya;
Abantu bayinza okunkola ki?
12Ebirayiro byo biri ku nze, Ayi Katonda;
Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza gyoli.#Zab 50:14
13Kubanga wawonya emmeeme yange okufa,
Owonyeezza ebigere byange okwesittala.
Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda
Mu musana ogw'abantu abalamu.#Yob 33:30, Zab 49:19; 116:8,9
Currently Selected:
Zabbuli 56: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.