YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 54

54
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Masukiri ya Dawudi: Abazifu bwe bajja ne bagamba Sawulo nti Dawudi teyeekwekedde ewaffe?
Okwesiga Katonda mu biseera eby'okwerarikirira
1Ndokola, Ayi Katonda, olw'erinnya lyo,
Onzigyeko omusango olw'amaanyi go.
2Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda;
Otege okutu kwo eri ebigambo eby'omukamwa kange.#Zab 55:1
3Kubanga bannamawanga bangolokokeddeko,
N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange;
Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe.#1 Sam 23:15, Zab 86:14 (Seera)
4Laba, Katonda ye mubeezi wange;
Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange.#Zab 118:6,7, Is 41:10
5Aliwalana obubi obwo ku balabe bange:
Obazikirize mu mazima go.#Zab 143:12
6Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe;
Nneebazanga erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.#Zab 52:9
7Kubanga anzigye mu kweraliikirira kwonna;
N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuka ku balabe bange.#Zab 59:10; 92:11; 112:8; 118:7

Currently Selected:

Zabbuli 54: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in