YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 53

53
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekimakalasi. Masukiri ya Dawudi.
Abantu abatamanyi Katonda
(Zab 14)
1 # Zab 14:1-7 Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.”
Bavunze, bakoze ebibi eby'omuzizo;
Tewali n'omu akola bulungi.#Zab 10:4
2Katonda atunuulira abaana b'abantu ng'asinziira mu ggulu,
Alabe oba nga waliwo abategeera,
Abanoonya Katonda.#2 Byom 19:3, Zab 102:19
3Buli muntu mu bo azze emabega amuvuddeko;
bonna awamu bagwagwawadde;
Tewali akola bulungi, tewali n'omu.#Bar 3:10-12
4Abakola obubi tebalina magezi,
Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere,
Era tebasinza Katonda?#Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3
5Awatali kitiisa we batiira ennyo, okutya okutabangawo!
Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abatali batuukirivu;
Balikwatibwa ensonyi, kubanga Katonda yabagaana.#Leev 26:36, Zab 141:7, Nge 28:1
6Singa obulokozi bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni!
Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa,
Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.#Zab 85:1, Ez 39:25, Kos 6:11, Yo 3:1

Currently Selected:

Zabbuli 53: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in