Zabbuli 52
52
Ya mukulu w'abayimbi. Masukiri ya Dawudi: Dowegi Omwedomu bwe yajja n'abuulira Sawulo: n'amugamba nti Dawudi azze mu nnyumba ya Akimereki.
Ababi n'abatuukirivu
1Lwaki weenyumiririza, ggwe omuzira olw'ebibi ebikolebwa ku batuukirivu?
Olunaku lwonna,#1 Sam 22:9,10
2oteekateeka okuzikiriza abalala;
Olulimi lwo lulinga akamwano ak'obwogi, ggwe omukozi ow'enkwe.#Zab 50:19; 101:7, Leev 26:36
3Oyagala ebibi okusinga ebirungi,
N'okulimba okusinga okwatula amazima.#Yer 9:4,5 (Seera)
4Oyagala ebigambo ebirumya abalala,
Ggwe olulimi olw'obulimba.
5Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna,
Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo,
Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu.#Zab 27:13, Nge 2:22 (Seera)
6Era n'abatuukirivu balikiraba, ne batya,
Balimusekerera, ne boogera nti,#Yob 22:19, Zab 40:3
7“Laba, ye wuuyo omusajja ataafuula Katonda mukuumi we;
Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi,
Nnanoonya obukuumi mu bugagga bwe!”#Yob 31:24,25, Zab 49:6
8Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Nneesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.#Zab 92:12,13; 128:3, Yer 11:16
9Nnaakwebazanga ennaku zonna,
olw'ebyo by'okoze.
Era nnaalindiriranga erinnya lyo,
kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.#Zab 54:6
Currently Selected:
Zabbuli 52: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.