Zabbuli 5
5
Ya mukulu w'abayimbi; ya bintu ebifuuyibwa. zabbuli ya Dawudi.
Okusaba obukuumi bwa Katonda
1Wulira ebigambo byange, ayi Mukama,
Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
2Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange,
Kabaka wange, era Katonda wange.
Kubanga ggwe gw'ensaba.#Zab 84:3
3Ayi Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange.
Buli nkya nnaakusabanga, ne nnindirira ky'onoonziramu.#Zab 88:13; 119:147
4Kubanga toli Katonda asanyukira obubi,
Tokkiriza bitasaana mu maaso go.
5Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go,
Okyawa bonna abakola ebibi.#Zab 1:5; 11:5; 73:4, Kaab 1:13
6Ozikiriza aboogera eby'obulimba;
Mukama akyawa abantu abatta n'abalimba.#Zab 55:23, Kub 22:15
7Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo.
Naasinzanga nga njolekera Yeekaalu yo entukuvu.#1 Bassek 8:30
8Ayi Mukama onkulembere nkole by'oyagala,
kubanga abalabe bange bangi.
Ndaga bulungi ekkubo lyo.#Zab 23:3; 27:11
9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa,
Balowooza kukola bubi,
Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde,
Boogera bya bukuusa.#Zab 12:2, Bar 3:13
10Basseeko omusango, Ayi Katonda.
Leka bagwe mu mitego gyabwe bo,
Babonereze olw'okwonoona kwabwe okungi,
Kubanga bakujeemedde ggwe.#2 Sam 15:31
11Naye bonna abakwesiga ggwe basanyuke,
Bayimbenga n'essanyu bulijjo,
kubanga ggwe obakuuma.
N'abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.#1 Sam 2:1, Zab 2:12; 33:21
12Kubanga Ayi Mukama owa omukisa abatuukirivu.
Ekisa kyo kibeetooloola ng'engabo.#Zab 115:13
Currently Selected:
Zabbuli 5: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.