Zabbuli 6
6
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye eby'ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okuwonyezebwa
1Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde,
Era tombonerereza mu busungu.#Zab 38:1, Beb 12:5,6
2Onsaasire, ayi Mukama;
kubanga amaanyi gampweddemu.
Ayi Mukama, mponya,
kubanga amagumba gange gankubagana.#Zab 41:4, Kos 6:1
3Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo,
Naye, ayi Mukama, olimala bbanga ki olyoke onnyambe?#Yok 12:27, Yob 8:4, Zab 35:23; 94:2, Is 33:10
4Komawo, ayi Mukama, ondokole,
Omponye olw'ekisa kyo.
5Kubanga abafu tebakujjukira.
Ani alikutenderereza emagombe?#Zab 30:9; 88:10-12; 115:17, Is 38:18
6Okusinda kunkooyezza.
Buli kiro nkulukusa amaziga nga ndi ku kitanda kyange,
Obuliri bwange bwonna ne mbutobya amaziga.#Zab 69:3
7Amaaso gange gazimbye olwo kukaaba ennyo,
Gankambagga olw'abalabe bange bonna abankaabya.#Zab 31:9; 88:9
8Muve we ndi, mwenna abakola ebibi,
Kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.#Mat 7:23; 25:41
9Mukama awulidde okwegayirira kwange,
Mukama akkiriza okusaba kwange.#Zab 31:22, Yob 8:3, Nak 1:2
10Abalabe bange bonna baliswala ne basoberwa.
Balivaawo mangu nga baswadde!#Zab 40:14
Currently Selected:
Zabbuli 6: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.