Zabbuli 4
4
Ya mukulu w'abayimbi; ya bintu eby'engoye. zabbuli ya Dawudi.
Obwesige mu bulungi bwa Katonda
1Onziremu, Ayi Katonda bwe nkukoowoola.
ow'obutukirivu bwange,
Wansumulula bwe nnali mu nnaku,
Onsaasire, owulire okusaba kwange.#Yer 23:6
2Mmwe abantu,
mulituusa wa okumpeebuula?
Mulituusa wa okwagala ebitaliimu,
n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3Naye mutegeere nga Mukama yeeyawuliddeko abamutya okuba ababe.
Mukama ampulira bwe mukoowoola.#Kuv 33:16
4Bwe munyiiga, temwonoona.
Musiriikirire, mufumiitirize mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe.#Zab 77:6, Bef 4:26
5Muweeyo ssaddaaka ezisaanira,
Era mwesige Mukama.#Ma 33:19, Zab 37:3; 51:19
6Waliwo bangi abagamba nti, “Ani alitulaga ebirungi?
Ayi Mukama, tutunuulire n'ekisa.”#Kubal 6:26, Zab 89:15
7Otadde essanyu mu mutima gwange,
Okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.#Is 9:3
8Ngalamira ne nneebaka mu mirembe,
Kubanga, Ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya.#Leev 25:18,19, Zab 3:5
Currently Selected:
Zabbuli 4: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.