Zabbuli 47
47
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
Katonda ow'obuyinza
1Mukube mu ngalo, mmwe abantu mwenna!
Mwogerere waggulu eri Katonda,
n'eddoboozi ery'essanyu!#1 Sam 10:24, 2 Bassek 11:12, Is 55:12
2Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa,
Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna.#Ma 7:21, Nek 1:5, Mal 1:14, 1 Bassek 10:22; 22:48, Ez 27:26
3Yajeemulula abantu wansi waffe,
N'amawanga wansi w'ebigere byaffe.#Zab 18:47
4Yatulondera ensi ey'obusika bwaffe,
Essanyu lya Yakobo gwayagala. #Am 8:7, Nak 2:2, 1 Peet 1:4(Seera)
5Katonda alinnye n'okwogerera waggulu,
Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.#2 Sam 6:15, Zab 68:18
6Muyimbe okutendereza Katonda,
muyimbe okumutendereza;
Muyimbe okutendereza Kabaka waffe,
muyimbe okumutendereza.
7Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna;
Muyimbe okumutendereza ne zabbuli.#Zek 14:9, 1 Kol 14:15
8Katonda afuga amawanga;
Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.#1 Byom 16:31, Zab 22:28
9Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye.
Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu.
Kubanga engabo ez'omu nsi za Katonda;
Era agulumizibwa nnyo.#Zab 72:11; 89:18, Is 49:7,23
Currently Selected:
Zabbuli 47: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.