YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 46

46
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola; ey'ekyalamoosi. Oluyimba.
Katonda ekiddukiro era amaanyi gaffe
1Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe,
Omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.#Ma 4:7, Zab 14:6
2Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga,
N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;#Zab 18:7
3Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga,
N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo okw'amaanyi.#Zab 93:3,4, Yer 5:22 (Seera)
4Waliwo omugga, emyala gyagwo
gisanyusa ekibuga kya Katonda,
Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo.#Zab 36:8; 43:3; 48:1, Is 33:21; 60:14, Kub 22:1,2
5Katonda ali wakati waakyo, tekiisagaasaganenga;
Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.#Ma 23:14, Is 12:6, Ez 43:7, Zek 8:3
6Amawanga gaayoogaana,
obwakabaka ne bwetabula:
Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka.#Zab 2:1; 18:13, Yo 3:16, Am 9:5
7Mukama ow'eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.#Zab 48:3 (Seera)
8Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama,
Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.#Zab 66:5
9Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi;
Amenya omutego, n'effumu alikutula;
N'amagaali agookya omuliro.#1 Sam 2:4, Zab 76:3, Is 2:4, Mi 4:3
10Musirike mumanye nga nze Katonda.
Naagulumizibwanga mu mawanga,
Naagulumizibwanga mu nsi.#Kuv 14:13, Is 2:11,17
11Mukama w'eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.#Zab 46:7 (Seera)

Currently Selected:

Zabbuli 46: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in