YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 48

48
Oluyimba; zabbuli ya batabani ba Koola.
Sayuuni ekibuga kya Katonda
1Mukama mukulu,
agwanira okutenderezebwa ennyo,
Mu kibuga kya Katonda waffe! ku lusozi lwe olutukuvu.#Zab 46:4; 96:4; 145:3, Is 2:2, Zek 8:3
2Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo,
Lye ssanyu ery'ensi yonna,
ku njuyi ez'obukiikakkono,
Ekibuga kya kabaka omukulu.#Zab 50:2, Kung 2:15, Mat 5:35
3Katonda yeeraze mu mayumba gaakyo nga ye kye kiddukiro.#Zab 46:7
4Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana,
Bajjira wamu bonna.#2 Sam 10:6-19
5Bwe bakiraba, bonna ne balyoka beewuunya;
Ne batya, ne badduka.
6Ensisi n'ebakwatirayo;
N'okulumwa, ng'okw'omukazi azaala.
7Olw'omuyaga oguva ebuvanjuba
Omenyamenya amaato ag'e Talusiisi.#Kuv 15:15, Is 13:8
8Nga bwe twawuliranga, era bwe twalaba bwe tutyo
Mu kibuga kya Mukama ow'eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. #Zab 48:1; 87:5(Seera)
9Twalowooza ku kisa kyo, Ayi Katonda,
Wakati mu Yeekaalu yo.
10Ng'erinnya lyo bwe liri, Ayi Katonda,
Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.#Ma 28:58, Zab 113:3, Mal 1:11
11Olusozi Sayuuni lusanyuke!
Abawala ba Yuda bajaguze,
Olw'emisango gyo!#Zab 97:8
12Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye,
Mubale eminaala gyakyo.
13Mwekalirize enkomera zaakyo.
Mulowooze amayumba gaakyo;
Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.#Zab 78:4-6; 122:7
14Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe:
Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.#Zab 23:3,4

Currently Selected:

Zabbuli 48: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in