Zabbuli 45
45
Ya mukulu w'abayimbi: ey'ekisosannimu; zabbuli ya batabani ba Koola. Masukiri. Oluyimba olw'okwagala.
Oluyimba lw'embaga ya kabaka
1Omutima gwange gujjudde musera ebigambo ebirungi;
Bye njogera nga mpandiika oluyimba lwa kabaka:
Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu.
2Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi;
Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo;
Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.#Luk 4:22
3Weesibe ekitala kyo mu kiwato
kyo, ggwe ow'amaanyi.
Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.#Zab 21:5; 24:8, Kub 1:6; 19:15
4Ne mu bukulu bwo weebagale owangule,
Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu;
N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa.#Kub 6:2
5Obusaale bwo bwa bwogi;
Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka;
abantu bagwa wansi mu maaso go.
6 #
Beb 1:8,9 Entebe yo, ey'o bwa Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna;
Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo gwa bwenkanya.#Zab 93:2
7Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi:
N'olwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako
Amafuta ag'essanyu okusinga banno.#1 Bassek 1:39, Zab 11:7; 21:6, Is 61:1, Bik 10:38
8Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa ka mooli ne akaloosi ne kasiya;
Okuva mu mbiri ez'amasanga ebivuga eby'enkoba bikusanyusizza.
9Abambejja bali mu bakyala bo ab'ekitiibwa;
Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.#1 Bassek 2:19; 9:28
10Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo;
Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo;
11Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo;
Kubanga ye Mukama wo; muvunnamire.#Is 54:5
12Abantu abe Ttuulo balinnoonya okusiimibwa nga bakuwa ebirabo;
Era n'abagagga ab'omu bantu,#Yob 11:19, Zab 22:29; 72:10
13baleeta eby'obugagga ebya buli ngeri. Omuwala wa kabaka ali munda mu lubiri,
Ekyambalo kye kikoleddwa mu zaabu.#Kub 19:7,8
14Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde ebyambalo eby'amabala;
Ne bawala banne embeerera,
Nabo banaaleetebwa gy'oli.
15Banaaleetebwa n'okusanyuka
n'okujaguza,
Banaayingira mu nnyumba ya kabaka.
16Mu kifo kya bakitaawo, wanaabeera batabani bo,
B'olifuula abalangira mu nsi zonna.#1 Peet 2:9, Kub 1:6
17Ndireteera erinnya lyo okujjagulizibwanga emirembe gyonna;
n'olwekyo abantu banaakutendereza emirembe n'emirembe.#Mal 1:11
Currently Selected:
Zabbuli 45: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.