1
Zabbuli 46:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Musirike mumanye nga nze Katonda. Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi.
Compare
Explore Zabbuli 46:10
2
Zabbuli 46:1-2
Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja
Explore Zabbuli 46:1-2
3
Zabbuli 46:4-5
Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo. Katonda ali wakati waakyo, tekiisagaasaganenga; Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
Explore Zabbuli 46:4-5
4
Zabbuli 46:9
Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro.
Explore Zabbuli 46:9