Zabbuli 43
43
Katonda atuyamba n'atulwanirira
1Onsalire omusango, Ayi Katonda,
era ompolereze eri abantu abatatya Katonda;
Ondokole eri omuntu omulimba atali mutuukirivu!#1 Sam 24:15, Zab 5:6; 7:8
2Kubanga ggwe oli Katonda mwe nneekweka;
kiki ekikunsuuzizza ewala?
Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okunyigirizibwa kw'abalabe bange?#Zab 31:4; 42:9; 44:9
3Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye,
Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.#Zab 2:6; 57:3; 84:1
4Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda,
Eri Katonda essanyu lyange eritasingika;
Ne ku nnanga ndikutendereza, Ayi Katonda, Katonda wange.
5Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange?
Era kiki ekikweraliikiriza?
Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza,
omuyambi wange era Katonda wange.#Zab 42:5
Currently Selected:
Zabbuli 43: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.